Empirivuma zanguwa okulumbibwa ebiwuka binji naye enkola eziyitwaamu okutangira ebitonde eby‘onoona ebirime nga eddagala ly‘obutonde erikozesebwa mukufuyira ebirime, okutabika ebirime wamu n‘emitego egikoleddwa mubintu ebitangalija bisobola okuyambako mukutangira ebiwuka.
Mukusooka, tusobola okukozesa ebintu eby‘obutonde ebitangira obuwuka. Bino bikolebwa okuva mubimera eby‘eddagala. Mukukozesa eddagala ly‘obutonde eritangira obuwuka, kakasa nti osoma ebiwandikidwa era obikozese mukugoberera okutabula eddagala erifuyira ebiwuka ne mukukozesa, omuntu ayina okwambala ebikozesebwa eby‘okwerinda nga enkampa (gloves) era ebomba eyina okusooka okuyumunguzibwa n‘amazzi agatukula era wewale okufuyira mubudde bwempewo.
Okutabika ebirime
Enkola ey‘okubiri kwe kutabika ebirime enva endiirwa nga radish bisimbibwa wamu n‘emiti gy‘empirivuma. enva endiirwa zisikiriza abalabe ab‘obutonde ab‘empirivuma olyo omuwendo gw‘ebiwuka neguba nga gutangidwa bulungi.
Eky‘okusatu, tusobola okweyambisa emitego egikoleddwa mubintu ebitangalija emitego gino wegikozesa amaanyi genjuba okukwaata ebiwuka eby‘ekikula eky‘enjawulo. Obuwanguzi bwenkola eno buva kukuteeka mitego gino mubifo birimu kitangaala