Okulunda ebyennyanja kweyongedennyo naye waliwo empagi abaluzi n’abanonyereza zebetaaga okusimbako essira webaba bagunjawo endiisa oba nga baliisa ebyennyanja.
Empagi ezisinga obukulu mu ndiisa y’ebyennyanja mulimu empooma y’emmere ekirizika,emmere by’ekola,okwewala okwonoona kw’empewo n’ensi.Empooma y’emmere y’empagi esiinga okuba eyomugaso kuba eno okosa empagi endala okuli ebiva mu mmere ,okwewala okwonoona kw’empewo n’ensi.Obuwoomi obukirizika bwawulwamu obuwoomi n’obungi bw’emmere eribwa.Obuwoomi bw’emmere bukosa kitono ku mmere eweebwa ebyennyanja era n’obusobozi bw’ebyennyanja okumannyira obuwoomi bw’emmere.
Empagi endala ezesigamibwa ko
Nga wayise ennaku ntonno ng’ebyennyanja nga bimannyidde emmere,obungi bwemmere esobola okulibwa busobola okupimibwa.Enno y’empagi esinga okuba ey’omugaso eri abalunzi kubanga eraga obusobozi bw’ebyennyanja okukula.Si buwoomi bwoka obukosa obungi bw’emmere esobola okuliibwa kubanga obungi bw’emmere eriibwa babukwatagannya nnyo ku kiriisa ky’amannyi agagirimu. Ekiriisa ky’amannyi gye kikoma okuba ekingi kivaako emmere eriibwa okuba entono.
Emmere by’ekola.Emmere y’ebyennyanja erimu ekiriisa ekireeta amannyi nga kino kiva mu birungo okuli ebizimba omubiri,ebireeta omassavu,n’ebyo ebireeta amannyi.Amannyi agava mu mmere erimu ekirungo ekireeta amannyi gakozesebwa mu kuteebereza okukula mu ndiisa eba eggunjuddwa wo.Ebyennyanja webirya emmere,yonna tekubibwa mu byenda,waliwo esigala era eno eba teriiwo eri ebyennyanja.
Emmere ekubibwa mu lubutto ,ebyennyanja bigifiirwa ku mutendera gw’okufuna amannyi okuva mu mmere olwo amannyi agaba galiwo agava mu mmere eba eririddwa ebyennyanja ganno nga gegabiyamba okukula n’okubaawo geego gennyi agaba gasigaddewo.
Emmere wemala okuliibwa,ebyennyanja bifulumya obubi n’omukka gwa ammonia n’olwekyo okwononeka kw’empewo kulina okendeezebwa okusobola okukendeza obuzibu bwekuyinza okuleeta eri obutonde.