Okusalira emmwaanyi entakera n‘okuziwawaagulira buli mwaka kyongera amakungulawamu n‘amagoba.
Salira emimmwaanyi egikuze nga giriko amatabi mangi era emmwanyi zijja kubala ntono naye totema kimu kya kusatu kumatabi omulundi gumu, kubanga kitwaala omwaka nga tezizeemu kubala. Temera ku 45 diguliizi kino kijja kul‘etera eminyololo 3 okumeruka. Tema eminyololo mubuwanvu bwa 30 – 50 cm wagulu we ttaka era oyoyoote ekikolo okuziyiza eddwade. Oluvanyuma lw‘omwaka ebikoola bingi ebipya bijja kuvaayo.
Engeri z‘okuwawaagula
Okuwawaagula kukolebwa kunkomerero y‘amakungula, kino kizaamu emimmwaanyi amanyi okuyita mukujako amatabi agatabala era amapya negamera. Kozesa makansi eyina obwogi muku wawaagula. Emimmwaanyi gikuumire kubuwanvu bwa mita 2 okugonza okunoga nera lekako amatabi anna kubanga amatabi amangi gakendeeza amakungula.
Menyako amatabi agemeza mubifo ebitali birungi kumatabi amalala, amatabi agamera oluvanyuma wamu n‘ago amakadde kubanga gano tegawa makungula malungi ate era gajjako emimmwaanyi amaanyi.
Jjako amatabi gaky‘emeza emirundi mingi okukendeeza okulwanira ebiriisa. Kakasa okuwawaagula kubanga kw‘ogera ekitangaala, amaanyiwamu n‘empewo kumazzi mumpewo nebugumu. Nera jjako amatabi agaliraanye ku ttaka kubanga gano galeeta enddwade, n‘ekisembayo ziika oba oyokye amatabi amalwadde okutangira okusasaana kw‘obulwadde.