Muwogo yemu ku mmere enzalirwanwa erimibwa mu Afirika. Entekateeka ennungi nga tonatandiika kusimba ,ng‘osimbye newoba nga tonasimba kiyamba okufuna makungula amangi.
Nga tonalima muwogo,kakasa nti olina ekiffo ekirungi awasobola okulimwa muwogo.Woba oyagala amakungula amalungi funa ettaka eddugavvu oba eririmu olusenyusennyu.Ekiffo kirina okuba nga tekirimu mazzi mangi era nga tekirimu mayinja, nga si limpi ate nga teriri ku kaserengetto.
Wekkannye ekiffo bulungi era ozuule omuddo ogw‘onoona ebirime ogguliwo kubanga omuddo gunno gwonoona kawefube ow‘okuguziyiza.
Ebikolebwa mu nnimiro
Ngatonasimba,kakasa nti ettaka olitegeka bulungi. Mu kawefube w‘okuteekateekka ettaka ,osobola okusalawo okutema ebiikata mu nnimiro oba nedda.Byombi birina obulungi n‘obubi.
Endduli zirina okusalibwa nga za kipimo kya sentimita 24 mu bbuwanvu era okusimba kulina okukolebwa ng‘ettaka liwewera.
Muwogo omuwa amabanga kisinzira ku migaso gye.Waba muwogo asimbibwa lwa ndduli ,awo simba nga ennyiriri oziwa amabanga ga mita 1 ne 0.5 mita okuva ku bimmera. Wabula muwogo woba omusimba lwa mmere, ebbanga eriwebwa lirina kuba lya mita 1 ku o.8 mita.
Ennimiro gifuuyire mu saawa 24 nga wakamala okusimba kisobole okulwisa omuddo okukula.
Nga wayiseewo wiiki 2 ku 3,simba buli awali amabanga okusobola okakasa obungi bw‘ekimmera kyolina. Kinno kirungi nnyo okukolebwa mu kadde kanno kubanga wolwawo,muwogo omukulu abika omutto.