Muwongo kirime kya muwendo mungi nyo nga kikola mukulibwa n‘okutndibwa, wabula omuddo gumukosa nnyo era negukendeeza amakungula nekivirako okufirwa.
.Okukabala obungi enimiro kurina okukolebwa kubanga kyongeza ku makungula okutuuka ku tani 5 buli hekiteya, mungeri yemu ettaka lilina okutekebwamu obugulumu naddala bweriba nga lya bbumba ate oli bwaba agenderea kukungula mu biseera bya musana. Tofuyira ddagala ly‘amuddo nga muwogo tanamera ku ttaka ekkalu ate okuzibikira obutuli ku bomba bwoba ofuyira omuddo okwewala eddagala okukoona ku muwogo. Okweyongerayo, muwogo bwaba tanaweeza wiiki 8 omudo kukoole n‘enkumbiera ofuyire eddagala ely‘ebika ebyenjawulo okusobola okulwanyisa omuddo ogw‘emputtu.
Emitendera gy‘okumulima
Olugendo lwona lutandika na kufuna nimiro eri ku musetwe, nga teregamamu mazzi, nga ettaka ziryakungulu nga amayinja si mangi, olwo newasayibwa okujjawo ebisubi n‘emiti, newakabalwa olwo nolinda wiiki bbiri omuddo negiddamu negumera olwo notekamu eddagala lya glyphospahte mu nimiro etalimu muddo mungi nga obuwanvu bwa 1m mu wiiki ebbiri okutta ebisubi ebimeruak okuva lwebyasayibwa.
Olwo enaku 14 okuleka omuddo okuffa era olumala nokabala enimiro kuno nozaako okutuuma ettaka kubanga kyongera ku mirandira/eminwe tani 4 buli hekiteya era kyanguya nokulwanyisa omuddo olwo nosimba nga waliwo amabanga ga mita 1 wakati wenyirir ne 0.8 okuva kukinya okutuuka ku kirala ettaka bweribamu oluzzizi.
Okwongera kwekyo fuyira eddagala ly‘omuddo nga bweriba lirambikidwa mu banga lya sawa 24 okutta omuddo ogumeruka era ozeemu awatamera nga wayise enaku 15-21 okusobola okwongera ku makungula. Nokusembayo, ku bikoola 4-6 nobwegendereza lwanyisa omuddo nga ofuyira eddagala eriragirwa oba okukoola.