Nga tonnatandika bulunzi bwa mbuzi obw‘amagoba, waliwo ebintu eby‘enkukunala by‘olina okufaako.
Nga otandika obulunzi bw‘embuzi, abakozi ba mugaso nnyo kubanga bano be bayamba okuliisa n‘okulunda embuzi. Ebiseera ebimu, kizibu okusanga omuyivu owa ddiguli nga akola omulimu ng‘ogwo era ebiseera ebisinga olina kufuna bataasoma oba abaasomako ekitono. Bbiizinensi okukola obulungi, olina okumanya engeri ey‘okubakwatamu n‘okukola nabo.
By‘otolina kubuusa maaso
Ettaka mpagi mu bulunzi bw‘embuzi. Awatali ttaka, tolina ky‘osobola kukola mu bulunzi bw‘embuzi.
Omuddo nagwo gulina okulowoozebwako nga tonnatandika bulunzi bwa mbuzi. Guno gusobola okusimbibwa nga gwongerezeddwako ebisigalira by‘ebimera ebirala. Oluvannyuma lw‘okukungula kasooli, ebisoolisooli bisobola okukolwamu emmere y‘ebisolo. Ebisoolisooli ebivudde mu yiika emu bisobola okuliisa embuzi ezisoba mu makumi ataano okumala emyezi mukaaga. Essenke nalyo lisobola okukozesebwa ng‘emmere y‘ensolo.
Amazzi ga mugaso nnyo mu bulunzi era galina okulowoozebwako nga tonnatandika bulunzi bwa mbuzi.
Ebizimbe. Bino biyinza okubeera ebyangungu naye nga bya kikugu era birimu; ekibangirizi w‘ofuuyirira, ekifo we zikolera dduyiro, ennyumba y‘obubuzi obuto n‘ennyumba y‘embuzi. Ebipimo n‘obugazi bisinziira ku muwendo gw‘embuzi z‘olunda.
Olulyo lw‘embuzi. Maleeto ze ezirina okutwalibwa bw‘ozigeraageranya ku mbuzi ennansi olw‘emigaso emingi gye zirina okusinga ennansi.