»Emitendera egigobererwa mu kulima obutiko«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=aPM94fnVZxs&list=PUZfzFgmReSD09S2L-cvg8uA&index=48

Ebbanga: 

00:13:31

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Farm Kenya
»Okulima obutiko mu Kenya; okulima obutiko kyetaagisa obukugu. Nga abakugu mu kulima obutiko bwebogera mu lulimi lw‘ekikugu, ebigambo ebimu bijja kusooka kunyonyolwa mu katambi kano. Okulima obutiko kwangu nnyo kuba kwetaagisa ekifo kitono nnyo n‘ennyumba ennyangu.«

Okulima obutiko gwe gumu ku mirimu egivamu amagoba ate nga gwetaagisa kitono okutandika. Obutiko bulina ekiriisa ekizamu amaanyi, ekigyamu obutwa n‘ekirungo kya vitamini ate bulimu ekiriisa kingi.

Obutiko busobola okulimibwa mu buli kitundu kyonna eky‘eggwanga. Weetaaga ennyumba ey‘enkalakkalira obutiko mwebusobola okukulira obulungi. Bwetaaga obungi bwa mazzi mu mpewo n‘okukuumibwa naddala mu budde obubi. Obutiko tebwetaaga nkuba.

Engeri y‘okusimbamu obutiko.

Kozesa ebintu ebikwetoolodde nga emiti n‘ebisooto okubukuuma nga buweeweera. Zimba ennyumba nga erina fuuti 10 ku 17 ate nga ebbugumu n‘obunyogovu bulina okuba nga buli wansi wa 250 n‘obungi bwa mazzi mu mpewo nga buli ku “degree 75c

Mu nnyumba ezimbiddwa n‘amabati, osobola okwala obuveera ku ngalama okusobola okuziyiza ebbugumu. Yala akaveera ku ttaka era omansireko obukuta bw‘emiti nga obunyise mu mazzi. Bikka amaddirisa n‘akatimba okusobozesa empewo okuyitamu n‘okuziyiza ebiwuka okuyingira. Toziyiza kitangaala kyonna kuyingira.

Okutegeka obutiko webukulira(substrate)

Mu kulima obutiko, ebintu ebiteekebwa ewakulira obutiko birina okuba nga tebirimu buwuka.Kozesa ensekeseke z‘omuceere, engaano, endagala ezikaze,ebikuta by‘ebinyebwa n‘emmwanyi okubitegeka okumala wiiki 5 nga ensigo z‘obutiko bw‘obutiko tezinaatekebwamu.

Fuba okufukirira ekifo obutiko webukulira atera ku lunaku 4 gattamu ekigimusa ekiva mu nkoko okusobola okufuna ekirungo kya nitrogen. Birekemu okumala ennaku bbiri nga bw‘obimansirako amazzi. Gattamu ekirungo kya Urea okwongera ekirungo kya nitrogen mu kifo obutiko webukulira. Bikyuse obizze mu kifo ekirimu ekisikirize bisobole okuvunda.

Ensigo y‘obutiko.

Mu kumera kw‘obutiko, teeka ekikuyita mu kifo ekirimu enzikiza mu nnyumba nga tewatuuka musana okumala ennaku 21. Ensigo bweziba zitandise okulabika , teekako ettaka eddungi eriweze 2 inche mu kutiya mwezikulira.

Singa obutiko bulina amabala kiba kiraga nti kyandiba nga kikwatiddwa obulwadde bwa fungal oba ekirwadde ekitavumulwa. Mansirako ensigo mu kifo obutiko webukulira okuziyiza okusaasaana kw‘ekirwadde.

Kungula obutiko mu bbanga lya mwezi gumu n‘ekitundu. Oluvanyuma lw‘okukungula, longoosa ennyumba era ogifuuyire.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:48Okulima obutiko kifuna nnyo ate kyetaagisa ensimbi ntono okutandika . Ennyumba ey‘enkalakkalira yetaagisa obutiko okusobola okukula obulungi.
00:4902:32Ebbugumu n‘obunyogovu n‘obungi bwa mazzi mu mpewo byetaagisa mu kuzimba ennyumba.
02:3303:25Bikka ennyumba n‘obuveera era omansireko obukuta bw‘emiti.
03:2604:01Ekifo obutiko webukulira kyetaagisa nga tekirimu buwuka.
04:0205:14Teeka ebintu ebigenda okukozesebwa mu kukula kw‘obutiko mu kisenge okugyibwamu obuwuka okumala ennaku 7
05:1505:45Okukomeera kukolebwa naddala mu kukwasisa kw‘obutiko.
05:4607:21Ekifo kirina okuba nga tekitukibwako muddo n‘ebintu ebivunze.
07:2208:40Obutiko we buba na mabala kyandiba nga kikwatiddwa obulwadde bwa fungal oba obulwadde obutasobola kuwonyezebwa.
08:4109:24Mansirako ensigo mu kifo obutiko webukulira kiziyize okusaasaana kw‘obulwadde.
09:2510:24Mu kumera kw‘obutiko teeka ekutiya mu kifo ekirimu enzikiza okumala ennaku 21.
10:2511:05Bwe buba butandise omeruka,bufuukirire amazzi.
11:0611:37Obungi bwa mazzi mu mpewo buleetera obutiko okukula ennyo.
11:3812:17Obutiko bwonooneka mangu ate buba na katale nga tebunaba kukungulwa.
12:1813:00Longoosa ennyumba era ogifuuyire . Kungula obutiko mu bbanga lya mwezi gumu n‘ekitundu.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *