Endabirira okutwaliza awamu
Kumanga ebinyweramu n’obutiba nga biyonjo kwosa nokukuuma ekiyumba nga kiri mu mbeera nungi nga kirimu ekitangala okukendeeza emikisa gyobulwadde okubalukawo wamu sokuziyira. Era enkoko ziwe amazzi nga tonaziwa mere okuzisobozesa okulya obulungi. Okwongerako, tangira faamu yo okuva eri ebisolo ebirya enkoko, yonja ekiyumba ky’enkoko era oziwe amazzi n’emere ebimala.
Engeri y’okukuuma mu obulamu
Gobereranga era owe eddagala etuufu wamu nokuzigemanga ku budde obuli ku kalenda. Okugattako, yita omusawo w’ebisolo bwewabo obulwade obuguddewo ku faamu. Okwongerako, tekawo ebbugumu erimala w’ozikumira era okuume ekisibo kyo okuva eri obunyogovu. Era ebinyonyi tobiriisa emere ewumbye kubanga ebeera ya butwa.