Omuwemba gugwa mu kika ky‘omuddo ogusimbibwa okufuna empeke , ezikolebwaamu sirapu . Ogukuza kyangu nnyo kiringa okulima kaasooli naye gwo gusobola okugumira ekyeya n‘amazzi ag‘ekitaba.
Embala z‘omuwemba ezenjawulo zikulira mu biseera byanjawulo ,naye embaala ezisinga zikulira munaku 90-150 naye embala ezisinga obungi zikulira mu nnaku 100-120. Amabanga agalekebwa mu makati g‘ebirime galina okuba sentimita 75 wakati w‘ennyiriri ne sentimita 20 eri embaala z‘ensigo ezikula amangu , sentimita 2o mu nnyiriri zennyini ,ne sentimeta 30 eri embala ezilwawo okukula.
Emiteendera.
Londa ekiffo ekirina ettaka eriddugavu, ekiseera ky‘obudde eky‘ebbugumu, kuba kyetagisa enkuba eri wakaati w‘ekipimo kya millimita 600- 100 buli mwaka.
Ttegeka ettaka nga olilongoosa nga weyambisa enkumbi, tractors, bullocks n‘eddagaala eritta obuwuka oba omuddo.
Londa ensigo ez‘embala ennungi okugeza nga grain sorghum, sweet sorghum and broom corn ng‘obijja mu biffo ebikakasiddwa.
Enkuba weba ettonnye bulungi,simba ensigomu nnyiriri era zirina okuba nga zinnyikiddwa mu ddagala erita obuwuka okugeza nga apron era n‘okwewala enswera ezimannyiddwa nga shoot flies mu biseera eby‘okuleka amabanga mu birime.When rain fall is adequately distributed, plant in lines dressed seeds with fungicides such as apron plus to control shoot flies at optimum spacing.
Tteekamu ebigimusa bya kipimo kya sentimita 6-8 okuvva kukimera okusobola obutakosa ndokwa.
Yongeramu ebigimusa ebikolebwa mu butonde woba obirina okusobola okuteeka ebirungo ebimala mu ttaka.
Ziyiza omuddo nga weyambisa enkola y‘okutegeka ettaka ennungi, ng‘okolesa emikono, eddagala erifuuyirwa ng‘omuddo tegunagya, okukyusakyusa eebirime nga oteekamu ebyo ebikola ng‘omutego okugeza nga ppamba ,ebinnyebwa.
Ziyiza obuwuka obwonoona omuwemba obusinga n‘obulwadde okusobola okwongela ku by‘okungula.
Kungula empeke mubwangu ddala nga zakakula, zikaze bulungi ,era ozitereke, zikongole , era ozijjanjabe osobole okwewala kawuukumi.