Ekutangira enddwade mu mayumba g’ebinyonyi

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=r5RM8u0P1GQ

Ebbanga: 

00:05:26

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Penn State Extension
»Okukendeeza ku kujja n'okusasaanya obuwuka obusirikitu obuyinza okubeera obw'omutawaana kyamugaso nnyo mukulunda ebinyonyi olw'okufuna sente ku faamu. Akatambi kano kalaga engeri y'okuleetamu omugennyi mukifo.«
Engeri y’okutangiramu obulwadde kyankizo nnyo kulw’okukulakulana kwa bizinensi y’obulunzi bwebinyonyi.
Okuziyiza enddwade ku faamu kikolebwa okutangira okujja n’okusasaana kw’obuwuka obusirikitu obw’obulabe. Abakola emirimu gy’ekikugu, abagenyi, ensolo z’omunsiko, ebirundibwa awaka n’emotoko enkozi z’emirimu byebimu kunsibuko, era bisobola okusasaanya obulwadde ku faamu.  Enkola y’okutangira obulwadde mukuyingira ku faamu kintu kirungi era nga buli mugenyi ayina okuyimirala wano nga tanaba kuyingira munyumba y’abinyonyi.

Enkola z’okutangira obulwadde

Omutendera ogw’omugaso mukukendeeza okusasaana kw’obulwadde kwekukendeeza kukukwaatagana kw’abagenyi nekifo ku faamu. Kino kisobola okutuukirizibwa okuyita mukwambala butusi nga abagenyi tebanayingira ku faamu. Era butusi ziyamba abagenyi obutatwaala buwuka obusirikitu okuva ku faamu.
Omugenyi bwaba nga avuga okuyingira mu faamu, emipiira giyina okubeera nga gifuyidwaako neddagala lingi eritta obuwuka naye ate emipiira bwegiba nga giddugala era nga giriko ebisooto, ky’amugaso nti emotoka esigala kumulyango awakebererwa kubanga ebintu ebiddugala tebisobola kufuyibwaako ddagala.
Oba omuntu aze avuga oba nga atambula, kyamugaso nti omugenyi ayambala eby’okwekuuma nga butusi, ovulo, erementi ebisabika engalo wamu n’akabika ku nyindo okutangira enfuufu.
Nga tonaba kuyingira nyumba yankoko, Omugenyi ayina okulinya mu ddagala eriyoza ebigere.  Abagenyi nga bava ku faamu y’ebinyonyi, eby’okwekumisa byabwe bisaanye okubagibwaako baleme kutwaala nddwade okuva ku faamu kugenda mubifo ebirala oba faamu endala.
 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:46Engeri y'okutangiramu obulwadde kiziyiza okujja n'okusasaana kwenddwade ku faamu.
00:4701:24Enkola y'okutangiramu enddwade mukuyingiramu ku faamu y'etagisa.
01:2501:55Okukendeeza kukukwaatagana kw'abagenyi nekifo ku faamu kyamugaso mukukendeeza okusasaana kwenddwade ku faamu.
01:5602:45Fuuyira emipiira gyemotoka eziyingira ku faamu.
02:4603:14Leka abagenyi abayingira faamu bambale eby'okwekuumisa.
03:1504:22Omugenyi ayina okulinya muddagala eritta obuwuka nga ayingira ku faamu.
04:2304:35Abagenyi bayina okugyamu eby'okwekumisa byabwe nga bava ku faamu.
04:3605:26Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *