Enkoko ez‘ennyama nkoko ezifuna ennyama okusinziira ku ndya yaazo, era okuzifunamu ekisinga, olina okuziriisa ennyo.
Enkoko ez‘ennyama zirya nnyo naye si tteeka nti gye zikoma okulya gye zikoma okukuwa ky‘oyagala. Okukozesa obulungi emmere enkoko gye ziridde, olina okwesiba ku bungi bw‘ebyo by‘oziwa okusinziira ku kye zikuwa, nga kino kifunibwa ogeraageranya obungi bw‘emmere enkoko gye zirya n‘obuzito bwe zissaako. Okugejja ennyo okusinziira ku mmere eriibwa kubeera wagguluko mu nkoko ento wabula kukendeera enkoko gy‘ekoma okukula.
Enkoko okukozesa obulungi emmere okugejja
Enkoko okukozesa obulungi emmere mu nkoko ez‘ennyama, olina okufuna enteekateeka egobererwa mu ndabirira, mu yo nti olumu enkoko ziweebwa emmere awatali kuzigerera ate olulala n‘otoziwa mmere okumala akabanga.
Mu wiiki esooka, eyookubiri n‘eyookusatu, enkoko ziwe emmere nga tozipimira, kubanga mu kiseera kino enkoko egejja nnyo nga esinziira ku kulya, ekitegeeza nti emmere entono ereetera enkoko okugejja n‘okweyongera obuzito.
Oluvannyuma lwa wiiki eyookusatu, osobola okuwa enkoko emmere nga obalirira, era kino okikola nga towa nkoko mmere mu ssaawa ezirimu ebbugumu (wakati w‘essaawa ttaano n‘ekkumi ez‘emisana) oluvannyuma, ziwe emmere olweggulo lwonna n‘ekiro okutuuka enkeera ku makya. Okukugira enkoko okulya takulina kusukka ssaawa mukaaga kubanga kino nga kigenda mu maaso, enkoko zitandika okukuba amasavu agali mu mibiri gyazo era zikogga.
Endabirira y‘obukoko
Bulijjo enkoko ziwe amazzi amayonjo buli kadde. Kino kyanguwa nga okozesa ebinywero ebyekola byokka okusinga lw‘okozesa ebinywero ebikwetaagisa okwenyigiramu okuwa enkoko amazzi.
Kakasa nga enkoko ez‘ennyama oziwa amazzi amaweweevu naddala mu budde obw‘omusana okuweweeza emibiri gyazo. Kino kiziyiza okukabirirwa okuva ku bbugumu, n‘enkoko okufa obukalaga.