Ekikula kyenyumba y’ente z’amata, amagezi genzimba, Obulunzi bw’ente z’amata

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=RZ_LZ7ukcvI

Ebbanga: 

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Discover Agriculture
Waliwo ebintu ebitonotono ebiyina okutekebwa munkola okusobola okufuna mukulundas ente z'amata. Olulyo olulungi olw'ente; ensolo okulya emere erimu ebiriisa byonna; okuteekawo embeera ennungi eri ensolo. Enyumba etuukiride ekola ky'amaayi mukuteekawo embeera ennungi eri ente naye ekibuuzo kiri nti butya okukolamu enyumba.

Ebigobererwa ebyangu ku nyumba y’ente z’amata

Enyumba eyina okubeera nga nyangu nga ewa ente emirembe era nga eyisa empewo. Eyina okuleetera ensolo okubeera mumbeera ey’egombesa nga ente zisobola okunywa amazzi n’okulya omuddo esaawa 24. Endiisa wamu nendabirira yensolo biyina okubeera nga bisoboka eri abakozi ku faamu. Enyumba ennungi eyamba omulunzi obuteesigama nnyo ku bakozi era kyongera ku magoba.

Eby’etaago ebisinga okw’etagibwa ku faamu

Enyumba eyina okubeera nga eyisa bulungi empewo. Zimba enyumba nga osinziira kumbeera ekwetolode. Eyina okubeera nga efuna omusana ogumala bubiseera by’obutiti wamu n’ekisikirize mubiseera by’omusana.
Kaakano zimba enyumba nga nga etunude buvanjuba  na bugwanjuba. Tuyina okugikuuma nga nyonjo munda ne wabweeru era n’ekikula kyenyumba kiyina okubeeranga kigikiriza okulongosebwa buli kiseera.
Oyinza okugaziya enyumba mubiseera by’omumaaso kati ekyo oyina okukiteeka mubirowoozo nga olonda ekifo. KIyina okubeera nga kikirizisa ensolo okutambula obulungi nga waliwo ebanga okwetoloola ekifo obutabaawo kutangira nsolo kwetaaya.

Okulonda ekifo aw’okuzimba

Mukulonda ettaka ow’okuteeka faamu y’ente z’amata kakasa nti tewali miti gitemwa era nti kiri wala nnyo n’awabeera abantu. Kisingako singa ozimba enyumba mukifo ekigulumivu nga simbanvu nyo. Kino kiyamba okwanguya okulongoosa era amazzi amayonjo gayina okubeera wo eri ente.
Mubiseera eby’omusana, enyumba eyina okubanga eyisa empewo. Zimba enyumba nga eri wala n’awali ekkubo eddene. Kino ky’akuyamba ensolo obubeera ewala n’ebireekaana. Amasanyalaze gayina okubeerawo tewali bw’etaavu bwakuzimba nyumba yabeenyi nnyo. Osobola okuzimba enyumba eyabulijo nga weyambisa ebikozesebwa ebiliwo. Mungeri ey’ekikugu, enyumba eyina okubeeranga nyangu nga eyisa empewo era nga ewa ensolo emirembe.

Ebika by’enyumba z’ente z’amata

Ezizimbiddwa n’emikoko zino buli mulimu gukolebwa bakozi, ezizibiddwa byombi abakozi wamu n’okweyambisa ebyuuma kumirimu egimu. Mukuzimba enyumba zimba, nga esobola okukyuusibwa okuva mweeyo ezimbiddwa n’abakozi okugifuula ezimbiddwa ebyuuma ku faamu.

Ebintu eby’okujukira nga tonazimba nyumba

Ekisookera ddala, kakasa nti aw’okuzimba wewaali mubuvanyuba ny’obugwanjuba okukakasa obuwanvu bwenju. Tegeka obugazi n’obuwanvu bwa fuuti nnya kubuli nsolo ku buli ludda. Bwoba nga oyina ensolo 50 enene kati awo enyumba eyina okubeera ne fuuti 100 kubanga muja kubeeramu ebisenge bibiri buli kimu kyansolo 25 nga zitunuuliganye ebanga wakati webisenge bino lija kubeera lya fuuti 12 ku 14.
Ebanga lino lija kukozesebwa abakozi okuterekamu emere, tractor, wamu n’ebigaali ku buli ludda lwabisenge.Waakiri kuuma fuuti munaana ku kkumi ezewazimbidwa.
Awo buli nsolo wesobola okuyimirira wabweeru wenyumba lekawo ekitono enyo fuuti 25 mu banga okusobola okubeerawo ekkubo lya fuuti 10 ku 14 wakati w’ebisenge ebibiri. Era ne fuuti 10 munda mubuli kisenge awo ensolo weziyimirira neziryaate era emabega fuuti 25 okusobola okuwa ensolo ekifo eky’eyagaza. Kino kiyamba ensolo okwebaka obulungi.
Mukiseera kyekimu okulongoosa enyumba kija kubeera kyangu nnyo. Kola akasolya kawakati wenyumba nga kalina fuuti 16 ku 18 mubuwanvu. Kano kasolya akatereevumu kubanga akasolya mu bisenge omuli ensolo kaserengetamu ko.
Akasolya kano kali fuuti 15 ku 16 ku ludda olumu ate ne fuuti 13 ku 15 ku ludda olulala. Ekisenge ky’omusenyu nakyo kizimbibwa kukaserengeto nga kiriko fuuti 13 ku ludda olumu ne fuuti 9 ku 11 ludda olulala. Enyumba eno efanana nga enyumba tano awamu ebanga lya fuuti 1.5 ku fuuti 2 likuumibwa wakati wekkubo nakasolya k’ebisenge. Ebbugumu bwerisituka, ligenda n’oluzzizzi mubudde bwebumu, ebisenge n’akasolya akasulike bisobozesa okufuluma kwempewo obulungi.

Obuyonjo bwenyumba

Kuly’okulongoosa okulungi wansi wenyumba wayina okubeera nga wessulike kuludda okuli omukutu gw’amazzi era enyumba eya fuuti 100 eyina okubeera nga yessulise fuuti emu. Kubuli nte 25, teekawo epipa y’amazzi emu enene, amazzi amayonjo gasobole okubeerangawo. Bulijo amatafaali n’emitayimbwa bikozesebwa okuzimba enyumba. Emitayimbwa egirimu ebituli najo gisobola okukozesebwa okuzimba enyumba eno era amabaati gakozesebwa okuzimba akasolya. Emiti wamu n’amabanda bisobola okukozesebwa okusala kunsasaanya naye jukira nti si biwangaazi era munkola eno, obuwuka obusasaanya enddwadde, ebiwuka n’enkwa biyinza okuleetawo obuzibu mumaaso eyo.
Nga ojeeko kino, ekifo awakamirwa, awatemerwaatemerwa omuddo, ekisenge awaterekerwa eddagala, awakuumirwa obuyana wamu n’awaterekerwa omuddo omubissi bizimbibwa ku ddundiro ly’ente z’amata nga by’awuddwa.

Eddwadde

Bwogula ente empya sooka ogikuumirwe wabali okumala ekiseera okusobola okutangira obuwuka okuva wabweeru obutagya ku faamu yo. Okugema n’obujanjabi obutuufu buyina okuweebwa ente ezo osobole okuziyiza okulwaaza ente ennamu. Bwolowooza nti ente kati nnamu oluvanyuma lwennaku 15 osobola okuzireka nendala ku faamu. Oyina okuteekawo eddagala ely’amazzi oba obuwunga bwa limestone wamu neddagala ely’okunyikamu kumulyango oguyingira ku faamu okuziyiza obuwuka obuleeta eddwadde okuletebwa ku faamu. Kaakano emipiira gyemotoka wamu n’abantu bayita mu ddagala lino nga tebanaba kuyingira ku faamu. Enyumba gizimbe eyisa empewo era nga mpeweevu, teekawo embeera eweweeza enyumba ku faamu.

Okukuuma obuyonjo ku faamu

Faamu eyina okubeera nenkola eyonja ekifo okusobozesa awabeera ensolo okubeeranga wasigala wayonjo. Ekifo awaterekebwa ebintu walina okubeeranga w’esude ebanga okuva ensolo wezisula. Kino kikolebwa kubanga muvaamu emikka egy’obulabe okugeza nga hydrogen sulfide, carbon dioxide, methane wamu ne amonia egiyinza okusibwa ensolo ate era giyinza okukendeeza ku mukka omulamya oba guyite oxygen. Ekifo ewaterekebwa ebintu kiyina okubeera nga kiri mu lukomera lwa senyenge oba ekikomera ekizimbe. Osobola n’okukola omukka gwa bio gas n’amasanyalaze ebisigalira ku biogas bisobola n’okukozesebwa nga ebigimusa eri ebirime. Bwekiba nga ekyo tekisoboka awo ebigimusa bisobola okukozesebwa ku bimera butereevu oba oyinza okubikyuusa mu nnakavundira oba oyo akoleddwa nga weyambisa esiringanyi.
Osobola n’okutunda ebigimusa kubanga byatunzi nnyo ku katale keby’obulimi n’obulunzi. Enyumba esaanidde tebeera y’akuwa nsolo  mirembe kyokka wabula n’okuba nga z’etaaya kubanga mumbeera ey’obulamu ensolo ziwa amakungula bangi era zezifuula bizinensi yo ey’amata eza amagoba.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:00Waliwo ebintu ebitonotono ebiyina okutekebwa munkola okusobola okufuna mukulundas ente z'amata. Olulyo olulungi olw'ente; ensolo okulya emere erimu ebiriisa byonna; okuteekawo embeera ennungi eri ensolo.
01:0102:31Enyumba eyina okubeera nga nyangu nga yeyagaza ate nga eyisa bulungi empewo.
02:3203:00Mukulonda ekifo aw'okuteeka faamu y'ente z'amata kakasa nti emiti egiriwo tezitemebwa ate era eri wala n'awabeera abantu abangi.
03:0104:30Kakasa nti ekifo awokuzimba wewali kuludda olw'ebuvanjuba n'obugwanjuba okusobola okufuna obuwanvu bwenyumba obumalal.
04:3106:31Kulw'okwanguyilwa mukulongoosa wansi wenyumba wayina okubeera nga w'ewunzikide ku ludda okuli omufuleje okutwaala amazzi nti enyumba eya fuuti 100 eyina okuba nga y'ewunzika fuuti emu.
06:3208:32Bwogula ente empya sooka ogikuumirwe wabali okumala ekiseera okusobola okutangira obuwuka okuva wabweeru obutagya ku faamu yo. Okugema n'obujanjabi obutuufu buyina okuweebwa ente ezo osobole okuziyiza okulwaaza ente ennamu.
08:3309:38Faamu eyina okubeera nenkola eyonja ekifo okusobozesa awabeera ensolo okubeeranga wasigala wayonjo. Ekifo awaterekebwa ebintu walina okubeeranga w'esude ebanga okuva ensolo wezisula

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *