Ebisagazi ekika kya Super napier kika ky‘amuddo ogulisibwa ensolo ogubala ennyo. Omuddo guno gukungulwa okutuusa ku bungi bwa 200 tonnes buli yiika mumwaaka, mukw‘eyongerayo, ebisagazi ekika kya super napier bisobola okufuulibwa omuddo gwensolo nga gugatidwaamu akaloddo.
Omutendera ogusooka mukusimba kw‘ekuteekateeka ettaka. Teekateeka ettaka era osime ebinnya kumabanga ga fuuti 3. Simba ebisagazi mubinnya bya fuuti biri nga byewunzikide ku 45 degrees. Bibike nettaka lyabungi bwa yiinkyi 2 era ofukirire okusobozesa okumera. Enduli z‘ebisagazi nga 10,000- 12,000 zezisobola okusimbibwa ku yiika emu. Okukoola kukolebwa oluvanyuma lw‘ennaku 30 okuva mu kusimba era okukoola okulala kukolebwa oluvanyuma nnaku 45 bwekiba nga ky‘etaagisa.
Okukula n‘okufukirira
Oluvanyuma lwennaku 45, ebisagazi bya super napier bijja kuba bimeze nga biwezeza obuwanvu bwa fuuti 3-4. Ebikkola bijja kubeera nga bw‘agagavu era nga kuliko engeri y‘olwooyayoya kukikolo. Ebikoola bijja kuba bimeze kubuwanvu bwa 100cm ku bugazi bwa 5cm.
Okufukirira kukolebwa buli luvanyuma lwa nnaku 7 okusinziira kukika ky‘ettaka. Amazi okuva mu kiraalo gasobola okukozesebwa okufukirira engeri gyegajjudemu ebiriisa era galeetera okukula amangu. Mukugattako, okufukirira kw‘okutonyeza nakwo kusobola okukozesebwa.
Okugimusa ebisagazi bya super napier
Nakavundira kyekigimusa ekisinga okubeera ekirungi eri ebisagazi bya super napier. Teeka ebigimusa kumpi n‘ekimera. Ebigimusa by‘amazzi bisobola okw‘eyambisibwa singa okufukirira kw‘okutonyeza kuba w‘ekuli. Yiika emu y‘etagisa obungi bwa tani taano ez‘ebigimusa.
Ekiseera ky‘okukungula n‘enkola
Mukukungula, ebisagazi bisaayire wansi okusobozesa okumera okupya. Oluvanyuma lwennaku 60, ekimera kijja kuba kimeze kubuwanvu bwa fuuti 5-6 era omuddo gusobola okukungulwa neguweebwa enkoko, embaata n‘obumyu kubanga ebikoola bibeera bigonda era nga nenduri ziba ziw‘oma.
Oluvanyuma lw‘ennaku 75, ekimera kijja kuba kubuwanvu bwa fuuti 8-10. Bisobola okukungulwa nga weyambisa najolo era nga birisibwa ensolo enene nga ente wamu n‘embalaasi.