Okukola nnakavundira mu bisigalira
Olw’okuba coir ze wuzi mu binazi, ebisigalira bya coir birimu ekirungo kya lignin ekiringa embaawo ekigumya ebirime, wabula ekirungo kya lignin kitwala ebbanga ddene okuvunda noolwekyo sikirungi mu kulima. Ebisigalira bya coir bikozesebwa mu ttaka ly’olusenyusenyu era bw’avunda obulungi akuuma amazzi agakubisa mu buzito bwe emirundi etaano ekisobozesa ettaka okukuuma amazzi agawera.
Mu bigimusa bya coir pith, ebikalappwa by’ebinazi binnyikibwa mu mazzi okumala wiiki eziwera, ne biggibwamu era oluvannyuma ne bikubibwa okwawula coir pith ku buwuzi. Kungaanya ebisigalira bya coir pith obikummunte bulungi ppaka nga temuli buwuzi era mu kisiikirize, kola nnakavundira mu mitendera 5 nga omutendera ogusooka gusaasaanyiziddwa.
Okufaananako, teekateeka ekikozesebwa okuvunza nga kirimu obuwuka obusirikitu obulungi okumenyaamenya ekirungo kya lignin okufuuka sukaali n’okukola ebirungo by’ebirime. Mansira liita 10 ez’ekikozesebwa okuvunza ku buli mutendera era ogatteko kilo 4 eza kalimbwe osaasaanye ekintabuli ky’obusa bw’ente bulungi ku coir pith. Gattako omutendera omulala okolenga bwoti okutuuka ku mitendera 5.
Weeyongereyo ng’omansira amazzi ku ntuumu buli lunaku okugikuuma nga mpeweevu era omulundi gumu mu nnaku 10, bikkula nnakavundira okuggyamu empewo eyalemeramu n’okusobozesa empewo empya okuyingira.
Oluvannyuma lw’omwezi, ekigimusa kya coir kiba kivunze bulungi era ekisembayo mu kuteekateeka ennimiro, teekamu kilo 100 ez’ekigimusa mu 200sqm z’ettaka okusimba ebirime.