Mu kulunda enkoko, okugema kintu kikulu nnyo kubanga kiyamba okutangira endwadde. Kyamugaso okumanya obudde obw‘okugemeramu enkoko.
Nga tonafuna bukoko bwa lunaku lumu, kakasa nti ekkulizzo ly‘obukoko webunatuukira waliwo ewava ebbugumu, ekitangaala n‘obukuta. Bwofuna obukoko, bugye mu kibbokisi obuteeke bulungi mu kkulizzo era ozireke ziwumuleme okumala eddakiika ttaano. Oluvannyuma lw‘eddakiika ttaano, ziwe amazzi agatabuddwamu ekirungo ekiwe obukoko 0buto amaanyi okumala ennaku ssatu. Emmere y‘obukoko buno etandikirwako erimu ekirungo kya vitamini n‘ekirungo ekiwa amaanyi obukoko obuto.
Ekipande ekigobererwa mu kugema
Ku lunaku olwe 14, gema enkoko ng‘ozitangira eri obulwadde bwa sotoka naye oluvanyuma lw‘okugema kakasa nti enkoko tozikuba ddagala litta buwuka, kubanga oluvanyuma lw‘okugema obusoboozi bw‘omubiri okulwanyisa endwadde tebwetaaga kutaataganya.
Zigeme nga otangira obulwadde bwa Gumboro ku lunaku olwa 20, ozigeme sotoka ku lunaku olwa 28 era oddeme ozigeme obulwadde bwa Gumboro ku lunaku olwa 33.
Zigeme okusobola okuzitangira eri obulwadde bwa namusuna ku lunaku olwe 42. Lino likubibwa ng‘onyika empiso mu ddagala erigema oluvanyuma n‘olikuba mu kabubi akali mu kiwaawatiro ky‘enkoko.
Ku lunaku olwa 50, gema enkoko zo omulundi ogusembayo ng‘ozitangira obulwadde bwa sotoka era oziwa ekigero ky‘eddagala erinywebwa. Abalunzi basobola okukozesa eddagala erigema sotoka erya LaSota eriwebwa enkoko nga bazikuba mpiso wansi w‘olususu n‘emu nnyama yaazo. Kino kiziyamba obutakwatibwa bulwadde bwa sotoka wakati w‘ebbanga lya myezi 6 n‘omwaka gumu.