Eddagala ery’obutonde eryongera obuzito bw’enkoko z’ennyama – Lyongera obusobozi bw’okulwanyisa obulwadde n’obutafa.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=S3wbpfJtnns&t=302s

Ebbanga: 

08:03:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2023

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agribusiness Insider
Ekirime kya pepper mint kirimu eddagala, kirimu butto ow'omugaso n'emiganyulo emirala ebyongeza okukula n'embeera y'obulunzi bw'enkoko z'ennyama olwo ne kyongeza ku magoba ga faamu. Ekirala, ekirime kya pepper mint kyangu kya kuteekateeka, kirimu eddagala ery'omugaso mu kwongera obuzito bw'enkoko z'ennyama, okwongera obusobozi bw'okulwanyisa obulwadde wamu n'okwongera omutindo gw'ennyama. Okwongerako, ensaano y'ekirime kya pepper mint eyongera ku ndya y'enkoko kubanga mulimu butto ow'omugaso n'eddagala lya menthol.

Emiganyulo gy’ekirime kya mint

Ensaano y’ekirime kya pepper mint erina emiganyulo mingi eri enkoko z’ennyama kubanga eyongera obuzito mu nkoko z’ennyama nga bw’ekendeeza ku buzibu mu byenda by’enkoko. Okwongerezaako, ensaano eno ekendeeza ku kufa kw’enkoko, eyongera  ku kulya kw’enkoko wamu n’okuzikuza amangu.
Ekirala eyongera ku nkuba y’emmere mu lubuto ennungi wamu n’okwongera ku mmere eriibwa olwo okukula kwazo ne kweyongera. Era ekirime kya pepper mint kitta obuwuka obw’obulabe, kyongera ku nkuba y’emmere mu lubuto ennungi n’okulya kw’emmere, wamu n’okutangira ekkabiriro.
Enteekateeka y’ensaano
Tandika na kulonda bikoola by’ekirime kya pepper mint eby’omutindo, oluvannyuma obyoze bulungi. Okwongerezaako, ebikoola by’ekirime kya pepper mint bikaze, kino kirina okukolebwa mu kasiikirize naye si butereevu mu kasana. Ekirala, ebikoola bise bifuuke ensaano oluvannyuma ogattemu 4.5g z’ensaano mu buli kilo y’emmere y’enkoko z’ennyama.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:53Mint alina akawoowo akalungi, alimu eddagala, akozesebwa mu mmere ng'ekirungo era ayongera ku kukula kw'enkoko z'ennyama.
00:5402:07Ekirime kya mint kirina butto ow'omugaso, eddagala eririna emiganyulo mu kwongera obuzito bw'enkoko z'ennyama.
02:0802:45Emiganyulo gy'ekirime kya mint: kyongera ku buzito bw'enkoko n'okukendeeza obuzibu mu byenda by'enkoko.
02:4603:36 ensaano eno ekendeeza ku kufa kw'enkoko, eyongera ku kulya kw'enkoko wamu n'okuzikuza amangu.
03:3705:08ekirime kya pepper mint kitta obuwuka obw'obulabe, kyongera ku nkuba y'emmere mu lubuto ennungi n'okulya kw'emmere, wamu n'okutangira ekkabiriro.
05:0906:33Ensaano y'ekirime kya pepper mint kyongera obusobozi bw'okulwanyisa obulwadde n'omutindo gw'ennyama y'enkoko.
06:3407:09ensaano y'ekirime kya pepper mint eyongera ku ndya y'enkoko kubanga mulimu butto ow'omugaso n'eddagala lya menthol.
07:1007:28Enteekateeka y'ensaano: londa ebikoola by'ekirime kya pepper mint eby'omutindo, byoze bulungi obikaze mu kasiikirize.
07:2908:03ebikoola bise bifuuke ensaano oluvannyuma ogattemu 4.5g z'ensaano mu buli kilo y'emmere y'enkoko z'ennyama

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *