Biringanya zezimu ku nva endirwa ezibala ennyoezisoblwa okulimwa mu kalimiro akawaka engeri kyeyetaaga awantu awatono era ne sente ntono.
Wabula, kigambibwa nti ensigo za biringanya zisooke zikuzibwe ku lubaawo ow‘obusenge okusobola okuyiga okugumira embeera nga tezinatwalibwa mu nimiro mwezikulira okusobola okufuna amakungula amangi. Era kirina okumanyibwa nti ebitonde bingi birumba biringanya okugeza aphids n‘ebisanyi.
Engeri y‘okumukuzaamu
Tandika nakusimba nsingo mu busenge obuli ku lubaawo wiiki mukaaga nga tewanabawo bunyogovu era bwezimera kwegamba enaku 8-10 zisimbulize ozitwaale mu nimiro.
Olwo otekemu ekigimusa kyenyenjanja ekitabula obulungi ekinunamu obuwuka obuleeta endwadde okusobola okutambuza obulungi ebirungo, amazzi g‘ensiringanyi agayamba ebimera okugumira endwadde n‘ebitonde ebyononoona biringanya, ekigimusa ky‘omunnyo gwa Epsom ekiyamba biringanya okugejja oba ebigimusa ebikiola byonna.
Kakasa nti olwanyiisa ebiwuka bi aphids nga okozesa neem nga alina okufuyirwa ku njuyi zombi ez‘ekikoola oba okozese amazzi ga sabbuni.
Okwongerako bwoba osimba biringanya, londa enimiro nga omusana gukubamu bulungi kubanga yetaaga esaawa 6-8 ez‘omusana okusobola okukula obulungi.
Okwongerako ebimuli bitunduze ngalo okukakasa nti buli kimuli kifuuka ekibala era simba ebika bya biringanya ebyenjawulo okulabisa enimiro obulungi.
Nekisembayo , bwoba ofumba biringanya gatamu ensigo z‘ekinzaali okwongera ku kiriisa.