Obulunzi bw‘ensiringanyi y‘enkola y‘okukozesa ensiringanyi okufuna ekigimusa ekikolebwa ensiringanyi. Okuzaazisa n‘okukubisaamu ensiringanyi kikolebwa okufuna ekigimusa ekikolebwa ensiringanyi.
Waliwo ebika bingi eby‘ensiringanyi okusinziira ku ngeri gye ziwaamu ekigimusa ekikolebwa ensiringanyi. Ensiringanyi esinga obulungi mu kukola ekigimusa y‘ensiringanyi emyufu. Kino kiri bwe kityo kubanga zirya ebisigalira bingi mu lunaku, zisobola okukola ekigimusa amangu ddala era zeekubisaamu mangu nnyo. Ensiringanyi enkulu ebiika eggi buli mwezi era eyalulira mu bbanga lya mwezi olwo n‘ezaala ensiringanyi 3-5. Obulunzi bw‘ensiringanyi bukolagana n‘okulima mu ngeri ey‘obutonde era abalimi basobola okusimba ebirime by‘obutonde nga bakozesa ekigimusa ekikolebwa ensiringanyi.
Emigaso gy‘ensiringanyi
Ensiringanyi zirya ebisigalira okugeza ebisigalira by‘effumbiro, omuddo ogwonoona ebirime ne nnakavundira. Ebisigalira eby‘obutonde ebiva mu butale bisobola okufuulibwa nnakafundira ng‘okozesa ensiringanyi olwo ne kikendeeza ku kwonooneka kw‘obutonde. Ensiringanyi zisobola okuzaazibwa ne zeeyongera olwo ne zitundibwa eri abalimi abalala.
Ebirime eby‘obutonde ebirimibwa mu kigimusa ky‘ensiringanyi birungi era bibeera ne ku miwendo emirungi ku katale. Akatale k‘ensiringanyi tekaliiko kkomo kubanga zisobola okutundibwa ku katale k‘ewaka ne mu nsi endala era weetaaga mpapula zikakasa zokka okutunda wabweru w‘eggwanga.
Emitendera gy‘obulunzi bw‘ensiringanyi
Omutendera ogusinga okuba ogwa wansi kwe kugula kilo emu ey‘ensiringanyi, okuteeka ebisigalira by‘omu ffumbiro mu liita abiri y‘ekidomola n‘okugattamu ensiringanyi era kino kijja kukola mu nnimiro ento eriraanye effumbiro. Ojja kuba osobola okufuna ekigimusa ekikolebwa ensiringanyi n‘ekigimusa ekikolebwa ensiringanyi eky‘amazzi. Mu nnimiro ennene, kozesa pipa ne kilo 2-5 ez‘ensiringanyi.
Ebbanga ly‘okukoleramu ekigimusa lisobola okutuuka ku myezi esatu singa watandisa kilo ttaano ate ebbanga ne lyeyongera bw‘otandika ne kilo eziri wansi w‘ettaano era ogwo gwe mutendera ogwokubiri. Ku mutendera ogw‘okusatu osobola okukozesa enkokoto oba emmerezo ezikolebwa mu mbaawo.