Ebyama ebireetera enkoko z’ennyama okuzitowa.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=UO_iBKnVCxw

Ebbanga: 

08:26:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agribusiness Insider
Okuliisa obulungi enkoko z'ennyama naddala nga zikyali nto kiziyamba okufuna ebinywa n'amagumba okugguma ekiziviraako okugejja ennyo. Ekirala, kakasa nti ozitandiisa mpola emmere eziyamba okuzitowa zireme kugejja nnyo.Okwongerezaako, bwoba oziriisa emmere etabuddwamu ebirungo, ziwe emmre etabuddwamu ekiriisa kya crude protein kya 23 buli kikumi mu mmere etandikibwako ne 19 ku buli kikumi mu mmere z'ezirya nga zikulidde ddala. Ekirala, nga tonalisa binnyonyi byo mmere ebireetera kuzitowa kakasa nti birina ebinywa n'amagumba amaggumu.
Eby’okuteeka mu nkola
Kakasa nti okola okunoonyereza era ofune obukoko obuli ku mutindo ogwa waggulu okuva mu bayaluzi abamanyikiddwa, era obukoko buwe emmere eri ku mutindo ogwaggulu obuwe n’amazzi mu budde obutuufu. Ekirala, buwe emmere y’enkoko z’ennyama etabuddwamu ebiriisa byonna n’ekirungo ekiziyamba okugejja mu bipimo ebituufu. Mu kusembayo ebinnyonyi biwe emmere eri ku mutindo ogwa waggulu, amazzi era obiwe n’ebbugumu naddala mu nnaku omusanvu ezisooka.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0002:02Kakasa nti okola okunoonyereza era ofune obukoko obuli ku mutindo ogwa waggulu okuva mu bayaluzi abamanyikiddwa.
02:0302:26Obukoko buwe emmere eri ku mutindo ogwa waggulu n'amazzi mu budde obutuufu
02:2702:55Ziwe emmere y'enkoko z'ennyama etabuddwamu ebiriisa byonna n'ekirungo ekiziyamba okugejja mu bipimo ebituufu.
02:5603:21Nga tonaliisa binnyo birungo bibiyamba kugejja kakasa nti birina ebinywa n'amagumba amaggumu.
03:2204:02Enkoko ziriise nnyo naddala nga zikyali nto nnyozisobole okufuna ebinywa n'okugguma amagumba.
04:0304:18Ebirungo ebiteekeddwa mu mmere y'enkoko z'ennyama zisobole okugejja; kasooli, soya, groundnut cake, palm kernel cake n'emmere y'eby'ennyanja.
04:1904:53Gattamu kasooli, soybean, groundnut cake mu bipimo eby'enkanankana 2:1:1, kwota 1/4 kg ya palm kernel ne waafu 1/2 kilo y'emmere y'eby'ennyanja.
04:5405:42Ebinyonyi bitandise emmere ezireetera okugejja naye ate toziwa nnyo mmere eyo.
05:4306:41Enkoko era zawule ng'osinzira ku buzito n'obunene era oziriise zokka ezo zoyawudde.
06:4207:24Ebinnyonyi biwe bulungi emmere eri ku mutindo, amazzi n'okuziwa ebbugumu naddala mu nnaku musanvu ezisooka.
07:2508:26Emmere y'enkoko esookerwako giteekemu ekirungo kya crude protein ekya 23 ku buli kikumi ne 19 ku buli kikumi mu mmere gye zirya nga zikulidde ddala.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *