Okuba n’ekifo kyekimu ku bisomooza abalunzi byebasanga nga basima ebidiba by’ebyenyanja.Ebbanga oba ettaka eririwo liri mu byaalo ewala n’obutale. Ebbulwa lya masanyalze okukuba amazzi wamu n’obukuumi nakyo kisomooza era awatali bukuumi bu
Ebisomooza ebirala
Engudo embi eziretera entambuza y’ebyenyanja okuva ku faamu okugenda mu katale enzibu ekivirako ensimbi ezitekebwamu okuba enyingi.
Olulyo lw’ebwenyanja obuto nga ebika bingi bikosebwa nnyo era tebivamu makungula malungi. Ensulo y’amazzi nga awasinga okuva amazzi tegaba malungi eri semutundu. Ebbeeyi y’okulisa ebyenyanja eri waggulu nga emere ey’omutindo ya bbeeyi ate nga ebbeeyi yeyongera buli kaseera. Kulyeko, abalunzi bakendeeza obungi bw’ebyenyanja bwebasitokinga.
Endwadde eziva ku ndiisa embi. Endya embi eretera ebyenyanja okukwatibwa amangu obulwadde.
Enkwata y’ebyenyanja naddala nga batambuza obwana okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala. Abalunzi abamu bafirwa obuyamba bungi nga babutambuza okuva webabuguze okugenda gyebulundibwa.