»Ebireetera embuzi okufa obukalaga n‘enfuuyira yaazo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=yY91HKmnBmg

Ebbanga: 

00:11:08

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Hamiisi Semanda
»«

Okufuuyira kimu ku kusoomooza abalunzi kwe basanga kubanga ebiseera ebimu, embeera y‘enkwa okuguba nga tezikyafa ddagala yeeyoleka.

Embeera y‘enkwa okuguba nga tezikyafa ddagala eyinza okuvvuunukibwa n‘okukyusa eddagala erikozeseddwa buli luvannyuma lwa myezi esatu. Nga okyusa eddagala erifuuyibwa, laba nga okyusa okudda ku ddagala eririmu ekirungo ekikola eky‘enjawulo ku ekyo ky‘obadde okozesa, kubanga eddagala erifuuyibwa lisobola okutuumibwa amannya ag‘enjawulo naye nga lifaananya ekirungo ekikola.

Okufuuyira

Okufuuyira obulungi, beera n‘ekifo ekizimbe w‘ofuuyirira ensolo zo era fuuyira nga okozesa ebikozesebwa ebirungi ebirina amaanyi agamala okusindika eddagala. Ebbomba ekozesa amafuta ekola bulungi nnyo kubanga ensindika yaayo ey‘eddagala eri waggulu ate mpangaazi.

Fuuyira buli wiiki era fuba okulaba nga ofuuyira ebitundu ebikulu enkwa mwe zitera okwekweka era mu bino mulimu; mu matu, mu nkwakwa, ku mukira, wansi w‘ensigo era ne mu bulinnya.

Amazzi goomumutima

Okuguba kw‘enkwa okuba nga tezikyafa ddagala bwe kweyoleka oluvannyuma lw‘okufuuyira eddagala erimu okumala emyezi esatu oba ena, otandika okufuna ensolo ezifuna ekirwadde ky‘amazzi goomumutima. Obubonero bw‘enfuuyira etali nnungi mulimu okufa obukalaga nga kiva ku mazzi mu mutima.

Omusujja, okukankana, n‘okubeera n‘ekyovu mu kamwa bubonero bw‘amazzi mu mutima. Okwekebejja ekisse ensolo kijja kulaga mazzi mu mutima.

Obulwadde bw‘amazzi goomumutima bwe bulumba ekisibo ekyalumbibwa edda obulwadde obulala, ensolo ezifa ziba nnyingiko.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:40Okufuuyira kimu ku bisoomooza abalunzi bye basanga.
00:4102:25Okuguba kw‘enkwa okuba nga tezifa ddagala kuyinza kuvvuunukibwa nga okyusa eddagala erikozesebwa buli myezi esatu oba ena.
02:2603:35Fuuyirira ensolo zo mu kifo ekizimbe nga okozesa ebikozesebwa ebirina amaanyi agamala okufuuyira.
03:3605:05Okufa obukalaga nga kiva ku mazzi mu mutima bubonero bwa nfuuyira etali nnungi.
05:0605:50Omuwendo gw‘embuzi ezifa guba muneneko singa obulwadde bw‘amazzi goomumutima bugwa mu kisibo ekyakosebwa edda obulwadde obulala.
05:5107:30Fuuyirira ddala buli wiiki era beera nga okyusa eddagala ly‘okozesa.
07:3108:45Ebbomba ekozesa amafuta nnungi nnyo mu kufuuyira.
08:4611:08Okufundikira

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *