Enjoka byezireta
Ebiseera ebisinga enkoko ezikosebwa tezigonza mere bulungi, okugitambuza wamu nokugikyusa mu mubiri. Okwongerako, ebinyonyi biraga obubonero bw’ekkabyo, okuwekeera okusumagira wamu n’obutalya.
Okwongerako, ebinyonyi ebikosebwa bikendeeza ku buzito, bidukana omusaayi era nga n’ebyenda byabyo bizibikira.
Enzijjanjaba ey’obutonde
Tandika nga oteeka ekijiijo 1 ekya vinegar ava mu apo(apple) mu buli kidomola ky’amazzi g’ankoko aganywebwa, kino kitekaawo embera etali nungi eri enjoka. Era ogatemu ebitundu 2% ebya diatomaceous earth mu mere y’enkoko, mu nkola endala tekamu ensigo z’ensujju ensekule mu mere y’enkoko zino zitta buli kika kya njoka. Okugattako, oyinza okugatamu obusse bwa katungulu chumu oba okenenulamu amazzi oteeke mu mere n’amazzi. Ekisembayo, enkoko ziwe bongo atalimu kintu kyona okuziretera okumerusa obwoya mu mumiro.