Buli mulunzi w’enkoko z’ennyama ayaayaana okufuna obuzito obwetaagibwa mu budde obusuubirwamu, naye oluusi kino tekisoboka.
Okukula empola mu nkoko kusobola okubeerawo olw’ebyobulamu bw’enkoko, endabirira y’enkoko n’okuziriisa emmere ey’omutindo omutono. Edda, abalunzi b’enkoko z’ennyama baatabulanga emmere n’eddagala okwongera ku kukula kw’enkoko naye kino kirina ebizibu bingi nga okuteekamu ekingi n’obuzibu mu byobulamu bw’enkoko n’abantu era kireetera abantu n’ensolo okufuna obuwuka obulwanyisa eddagala.
Ebintu ebyongera ku nkula
Katunguluccumu; ono azuuliddwa okuba ekintu eky’obutonde ekyongera ku nkula y’enkoko kubanga ayongera ku kukula, emmere eriibwa, akendeeza ku kufa kw’enkoko n’ayongera ku kukula kw’obuwuka obw’omugaso mu lubuto. Obungi obulagibwa ze kilo 3 eza katunguluccumu w’obuwunga mu buli kilo y’emmere.
Ekirime ekiyitibwa bitter kola: kino kirina ebirungo eby’omugaso nga iron, ekirungo ekigumya amagumba n’amannyo, fibre n’ebirungo ebirwanyisa obuwuka obuleeta endwadde era kyongera ne ku nkula y’enkoko. Kikozesebwa nga kikaziddwa mu kasana ne kisekulwa okufuuka obuwunga olwo obuwunga bwa 25g ne bugattibwa mu buli kilo y’emmere.
Ekinzaali ekiganda: kino kigwa mu kika ky’entangawuzi. Kino kirwanyisa obuwuka obusirikitu, kirwanyisa obulwadde bwa coccidiosis, kirwanyisa ebireeta obukosefu. Era kyongera ku kukula era obungi obulagibwa ze 7.5g ez’obuwunga mu buli kilo y’emmere.
Ekirime kya cloves: Okusukka ku kubeera ekintu ekyongera ku nkula y’enkoko, zikola nga eddagala era ziyamba ne mu kukuba emmere mu lubuto. Obungi obulagibwa ze 0.15g ez’obuwunga bwa cloves mu buli kilo y’emmere.
Eddagala eriyitibwa thyme: okuteeka 1g ey’obuwunga bw’eddagala lya thyme mu buli kilo y’emmere kyongera ku nkula y’enkoko z’ennyama.
Entangawuzi; eno eyamba mu kukuba kw’emmere mu lubuto era etta ebiwuka ebinyuunyunsi. Okuteeka ebitundu 2% eby’entangawuzi mu mmere kyongera ku kukula kw’enkoko z’ennyama kwe kugamba nti teeka 20g ez’entangawuzi y’obuwunga mu buli kilo y’emmere.
Kaamulali (cayenne pepper): ono ayongera ku bwagazi bw’enkoko okulya olwo ne kyongera ku mmere eriibwa n’okwongera ku kukula kw’enkoko. Atta n’enjoka zoomu lubuto era akozesebwa okujjanjaba obulwadde bwa coccidiosis. Ekigero kya 0.5g mu buli 100g ez’emmere.
Ekirime kya black pepper: ono alina ebirungo ebyongera ku kukula mu nkoko z’ennyama ku bungi bwa 10g eza black pepper ow’obuwunga mu buli kilo y’emmere.