Semutundu mulimu ogufunira ddala oguyinza okusobozesa okufuna amagoba mu kiseera kitono ddala. Nga tonatandika kulunda semutundu, wetaaga okuwabulibwa bulungi era nokufuna amagezi agakwatagana n’obulunzi bwa semutundu.
Ebintu byolina okutunulira
Nga tonatandika kulunda semutundu, wetaaga okumanya obusobozi bw’ekidiba kyo, awava amazzi, ekika ky’obuyamba bwogenda okuleeta, wamu nokunonyereza ku katale.
Ekidiba ky’ebyenyanaja: Waliwo ebika by’ebidiba bingi era nga mulimu, ekisimibwa, eky’etundubali, ekyenkokoto, wamu neky’apulasitika. Bino byawukana mu buneene era nga obunene bw’ekidiba bwebusinzirako obungi bw’obuyamba bwolunda mu banga eggere.
Ensulo y’amazzi: Ensulo y’amazzi etakalira kikulu nnyo eri semutundu okukula obulungi nolwekyo olina okuba n’awava amazzi amayonjo nga tegalina bulabe eri semutundu.
Ekika ky’obuyamba bwotandisa: Nga atandika, wetaaga okutandika n’ekika ekirungi ekya semutundu ekikola obulungi, Bwogula ekika ekibi, kino kikosa enkula yabwo, Nolwekyo obuyamba bugule okuva eri abesigika.
Emere; okulya kutwala ebintu 70 ku100 ku mbalirira y’okulunda semutundu nolwekyo sente zirina okubaawo ezigula emere. Ebyenyanja biriise emere eyomutindo nga y’ampeke entuufu kubanga omutindo gukosa engeri ebyenyanja gyebikulamu.
Okunnonya akatale; Nga tonatandika, kola okunonyereza ku katale omanye ebbeeyi ya semutundu mu kitundu kyo kubanga kino kisalo bunene kki bwotundirako semutundu zo.