Abalimi b‘ebimuli baatwala obudde obuwera nga balowooza ku ttaka lyabwe. Kino kireetera obulimi bw‘ebimuli okulabika nga obuzibu era olw‘obwagazi bw‘ettaka, batono abakozesa ennima y‘omu mazzi agatabuddwamu ebiriisa.
Okusimba enva endiirwa mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa kitegeeza nti ebirime bisimbibwa awatali ttaka wabula mazzi n‘ebiriisa ebyetaagibwa bye bikozesebwa. Enkola era esobola okukozesebwa mu mwaka gwonna. Okulimira ebirime mu mazzi agalimu ebiriisa kuleeta amagoba mangi, kwetaaga ekifo kitono era kukozesa amazzi matono okusinga okulimira ku ttaka. Okuyingiza ebimuli n‘enva endiirwa mu nkola eno tekirungiya nnimiro ya nva ndiirwa kyokka wabula n‘omulimi afunamu.
Emiganyulo gy‘okulimira ebimuli mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa
Mu nkola eno, okufunamu kwanguyizibwa, osobola okuteeka ebiriisa byo ku buli kika ky‘ekirime, temuli muddo gwonoona birime n‘ebiwuka era n‘obulwadde butono obw‘okulwanyisa.
Enkola z‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa zirina emigaso okusinga enkola z‘okulimira ku ttaka. Emigaso gino mulimu; okufunamu amangu ku ludda lw‘okukula era ebirime bikula mangu ebitundu 50% okusinga ebyo ebikulira mu ttaka olwo ne muvaamu amakungula g‘ebikoola mangi.
Emiganyulo emirala
Okulima ebimuli mu nkola y‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa kikuwa obuyinza ku birungo ebigenda mu birime n‘ekipimo ky‘olunnyo ekyenkanankana ne kikusobozesa okukwataganya obutonde n‘ebyetaago bya buli kika.
Mu bufunze, awatali kiziyiza kya ttaka, ebirime tebyetaaga kukozesa maanyi mangi okutambuza ebiriisa okutuuka mu mirandira gyabyo mu nkola ey‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa.