Obulo kika kya muddo ogukula okumala omwaka era busimbibwa okufuna emmere oba omwenge, obuti bw’obulo busobola okukozesebwa ng’emmere y’ensolo. Wabula nga tonnasimba wewa era oteeke ekirungo kya nitrogen mu nsigo nga ozibisse.
Obulo bwagalibwa kubanga tebukosebwa mbeera ya budde mbi, bulina ekirungo kya magnesium, butuwa emmere wamu n’okuleeta ensimbi. Okwongerako kozesa ensigo ennongooseemu, simba mu nnyiriri, kuuma amazzi n’ettaka, tangira omuddo ogwonoona ebirime, ebirime biwe amabanga, tangira ebitonde ebyonoona ebirime n’obulwadde okufuna amakungula amangi.
Endabirira y’amakungula
Fuba okukeberanga obulo okusobola okumanya we butuuse mu kukula era kungula ekirime nga kituuse okukungula.
Era weewale okutuuma obulo era kozesa amatundubaali ng’okungula okwewaza empeke okumeruka.
Okwongerako tereka obulo obukaziddwa mu bukutiya, obuteeke ku mbaawo nga bulina amabanga agamala okuva ku bisenge okwewaza obulo okuyingiza amazzi okuva wansi ne ku bisenge.
Ekirala, tambuza obulo obukunguliddwa okuva mu nnimiro, bukaze, bupakire mu bukutiya era otereke obukutiya ku mbaawo.
Okwongerako, obulo bukubire ku ttundubaali, buwewe, bupakire mu bukutiya era obukutiya buteeke ku mbaawo okuziyiza emmese n’okuwumba.
Ekisembayo kungula empeke kasita zikaluba kubanga okulwawo okukungula kuvaamu okweyasa kw’ensigo z’obulo.
Ebisoomooza
Ebimu ku bisoomooza abalimi b’obulo bye basanga mulimu, akasana akangi, ebinyonyi, obulwadde, omuddo ogwonoona ebirime, entereka n’okukka kw’ebbeeyi yaabwo ku katale.
Okutema empenda
Ebisoomooza bisobola okugonjoolebwa okuyita mu kujjuza amabanga, okutangira omuddo ogwonoona ebirime, okulambula ennimiro, okuteekamu ebigimusa, okusimba ensigo ennungi, okutambuza obulo oluvannyuma lw’okukungula wamu n’okukungula ng’ensigo zikalubye.