Abalimi bangi bafiirwa kasooli mungi nga kiva ku nkola ezitali nnungi oluvannyuma lw‘okukungula kasooli. Okulaba nga ebikolebwa oluvannyuma lw‘okukungula kasooli bikolebwa bulungi kyongera ku makungula era ne kikendeeza okufiirizibwa okuggya nga kasooli akunguddwa.
Empeke za kasooli akaziddwa obulungi zibeera zikaluba nnyo era zikola eddoboozi erya waggulu bwe ziyiibwa era tezikwatira ku ngalo nga zinyigiddwa. Wabula, kasooli asobola okukungulwa nga akyali wa kiragala obubooya bwe bufuuka kitaka era bw‘aba akunguddwa nga mukalu, nga ebikoola n‘ebikuta bikalidde ddala.
Ebikolebwa
Nuula/kungula mangu nga langi enzirugavu ezze wakati w‘ennyiriri z‘empeke n‘ekikongoliro okukendeeza obulumbaganyi obukolebwa ebitonde ebyonoona ebirime.
Nga okozesa engalo susa kasooli, era omukongole nga okozesa ekyuma okuziyiza okumenya empeke.
Kaza empeke era ozitangire okutonnyamu enkuba okuggwaamu amazzi n‘okuziyiza okuwumba.
Bulijjo tereka empeke mu bifo ebiteeketeeke oba obukutiya era otunge okuziyiza empeke okuleeta emirandira.
Tereka kasooli mu bifo ebiyonjo era ebikalu era oteekewo eddagala erimukuuma nga mulungi.
Panga ensawo za kasooli ku bibaawo ebisitufu okwewala okukukula.
Fuuyira n‘eddagala lya Ak tellic okuziyiza okulumbibwa kw‘ebiwuka.