Kubanga kirime kya mpeke ekirina ekiriisa ekingi, okulima obulo kukyali wansi olw‘enima embi ekiretera amakungula amatono nga nomutindo guli wansi.
Obulo buvaamu ekirungo ekyamanyi ekiyamba omubiri okulwanyisa endwadde. Okubulima kubaamu okutekateka ettaka, okukoola, okugimusa, okukungula wamu n‘enkwata yabwo nga bumaze okukungulwa.
Enima y‘obulo
Enimiro erina okutegekebwa nga osooka kutema evunike olwo nokabalakabala emirundi ebir. Kwekyo, otema obutumutumu n‘ebinya mu nimiro eyokufukirira oba okukola obulimiro obuterevu bwoba wesigama ku nkuba era notekamu nakavundira ava mu nimiro. Mu buri hactare (yiika 2.5) otekamu tani (tonnes) 8-10
Mungeri yeemu, simba 3kg ey‘ensigo buli hactare ettaka bweliba dungi ate bweriba sidungi simba 4.5kg mu hactare nga oziwa amabanga ga 30cm *60 cm okusinzira kungeri enimiro bwefukirirwa saako n‘obugimu bw‘ettaka. Mu bintundu ebyesigama ku nkuba, ensigo ziwe amabanga ga 45*10-12cm nga okozesa enkola ey‘ekyuma kya layini 6 ekisima wansi okusobola okufuna obungi bwa 1.5-1.75lakhs buli hactare.
Okweyongerayo, ensigo zigemese Azobacter oba Azospirillum okwongera ku makungula. Tekamu ebigimusa nga Nitrogen 40-60kg/ha, Phosphorus pentoxide 20-30kg/ha wamu ne Potassium bwoba wesigama ku nkubaate bwonba ofukirira otekaamu N100-120kg/ha, Phosphorus pentoxide 40-6-kg/ha wamu ne potassium. Otekamu kitundu ku kigimusa kya Nitrogen nga osimba asigalawo nomutekamu nga wayisewo enaku 45 okuva lwosimbye. Phosphorus ne P otassium bitekebwamu mu biseera bya nkuba oba nga ofukiridde.
Bwomala okufukirira okola obulimiro obuseteeze, nokabala bulungi notekamu n‘ebigimusa okusobola okukozesa amazzi obulungi. Kozesa enima e‘enjawulo, koozesa emikoza wamu n‘eddagala okwewala omuddo.
Sibyebyo byoka waggulu, naye era okukozesa enima entuufu okugeza nga odiringanya, nga obitabulatabula wamu n‘okutobeka. Nga okungula obulo, oyinza okutemera ekikolo wansi oba okutemako ekirimbasinga amazzi gatuuka ku 20% oluvanyuma lw‘enaku 85-95 era obukaze okumala enaku 2-3okwongera okubukaza paka nga amazzi gasigadde 12% olwo n‘obukuba era nobutereka.
Edwadde enkulu ze Ergot ne Downey mildew ezewalika nga ogema/onyika ensig, nga okabala, era newewala okusimba ekimera ekimu kyoka, okufuyira nebirala.
Nekisembayo, ebika by‘obulo mulimu; CZP-ic923, pusa comp 383, WCC75, HC10, HC20 and pusa comp 334.