Avocado mmere erimu ebiriisa eri abalimi n‘abaguzi. Okusimba ekimera kya avocado kyangu era kyetaaga emitendera emyangu n‘amagezi.
Emitendera gy‘okusimba
Funa ekifo ky‘okulimiramu ekirina okirina okunnyikira kw‘amazzi mu ttaka okulungi n‘ettaka eriddugavu oba ettaka ly‘olusenyu nga lutono okusinga ku ttaka liddugavu n‘eryebbumba eritakuuma bulungi mazzi ekireetera emirandira okuvunda.
Eky‘okubiri sima ebinnya bya fuuti bbiri mu kukka ne fuuti bbiri mu bugazi okusobozesa ebirime okukula obulungi.
Tegeka eby‘okukozesa mu kusimba nga ekigimusa ekivunze, ebigimusa nga multi force ekitumbula enkula y‘emirandira.
Tabula ebigimusa n‘ettaka era oteekemu ku by‘otabudde mu kinnya.
Simba endokwa era oteeke ettaka okutuuka ebimera we byagattibwa oba okutuuka ettaka ly‘endokwa we lyakooma.
Wagira endokwa n‘amazi amangu ddala okwewala ebimera obutakula bulungi n‘okufa.