»Ebikka by‘eddagala eritta omuddo n‘enkozesa yaalyo ennungi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=LgpX0sqEtZk&t=602s

Ebbanga: 

00:15:17

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Cassava Matters
»Abakugu bagamba nti enkola ey‘okutta omuddo ogw‘onoona ebirime mu nnimiro nga okozesa eddagala erifuuyiddwa, y‘engeri ekyasinze okozesebwa mu kutta omuddo mu nnima y‘ensangi zinno ,naddala nga olima muwogo ow‘okutunda ku kiffo ekigazzi . N‘olwekyo enkola eno yetaniddwa nnyo abalimi okwetoloola ensi yonna. Kubanga ensi ezikyakula zisanga obuzibu obw‘ebbula ly‘abakozzi okujjamu omuddo gunno nga bakazesa engalo.kinno kiva ku bantu abangi abavvudde mu byalo nebadde mu bibugga.Wabula enkozesa enungi ey‘eddagala linno yamugaso nnyo mu kutta omuddo n‘okukuuma ebisolo ,abantu n‘ewabeerwa nga tewalina buzibu.Akatundu kanno aka muwogo yetagibwa okufiirwako kogera ku bikka by‘eddagala erifuuyirwa omuddo ogw‘onoona ebirime,batya webalikozesa n‘otafuna bulabe,batya wokozesa ebipimo ebituufu osobole okukuuma abantu,ebisolo newaberwa nga tewwali buzibu.«

Enkozesa y‘eddagala eritta omuddo ennungi yamugaso nnyo mu kutta omuddo era n‘obutakosa bantu,bisolo n‘embeera.

Eddagala linno lya bikka 3 ku mitendera 3. Okufuuyira eddagala erikozesebwa nga tonasimba okusobola okutta omuddo oguwangaala ,okufuuyira eddagala erikozesebwa nga wakasimba ng‘ettaka liweweera okusobolaa okutta ensigo z‘omuddo oba endokwa z‘omuddo n‘eddagala erifuuyirwa nga wayiseewo wiiiki nga omazze okusimba okusobola okutta omuddo ogw‘onoona ebbirime

Okwegendereza

Nga tonafuuyira nnimiro,soma akapapula akali ku kakebe k‘eddagala osobole okumannya ekipimo ekituufu eky‘okukozesa,olunnaku weryakolebwa n‘olunnaku eddagala kwerigwerako. Era yambala eby‘okwekumisa okuli akakookolo ku nnyindo,obusabika engalo ne gambutusi.

Fuuyira ku lunnaku olwo lwoka ng‘empewo ekuunta siyammannyi era nga tewali kabonero ka nkuba konna. Eddagala lirina okufuuyirwa omuntu atendekeddwa.

Tolya,tonnywa era tofuuweeta kintu kyonna ng‘ofuuyira. Ebikozeseddwa bisuule mu kiffo ekyekusifu abantu webatasobola ku bituuka wabula woba toliinaawo,nnyumunguza emikebe emirundi essattu n‘amazzi,kafumitemu omusumaali era okaziike wansi ddala mu ttaka.

Tonywera amazzi mu mikebe ejibeeramu eddagala,okuguliramu butto oba ekintu ekirala ekiriibwa omuntu oba ekisolo.

Eby‘okussaako essira ng‘omazze okufuuyira

Ng‘omazze okufuuyira,Akafuuyira eddagala kooleze mu nnimiro gy‘ofuuyidde wabula si mu migga oba mu biffo awajjibwa amazzi. Yozza era okyuse engoye zo nga tonalya oba okunywa ekintu kyonna.

Singa wekwata mu liiso obba ku lususu, weyumunguze n‘amazzi agookya okumala eddakiika 10 ekitonno ennyo.W‘owulira kaamunguluze oba obunafu nga wakamala okufuuyira,tonnya matta oba amazzi g‘ebinazzi era tewebakka,Genda mu ddwaliro n‘akakebe akabadde mu eddagala.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:36.Enkozesa y‘eddagala eritta omuddo ennungi yamugaso nnyo mu kutta omuddo era n‘obutakosa bantu,bisolo n‘embeera.
01:37.02:21Akapapula akali ku kakebe
02:2202:37Yambala eby‘okwekumisa
02:3802:58Fuuyira ku lunnaku olwo lwoka ng‘empewo ekuunta siyammannyi era nga tewali kabonero ka nkuba konna. Eddagala linna okufuuyirwa omuntu atendekeddwa.
02:5903:13Eddagala lirina okufuuyirwa omuntu atendekeddwa.
03:1403:50Tolya,tonnywa era tofuuweeta kintu kyonna ng‘ofuuyira.
03:5104:23Ebikebe ebikozeseddwa bisuule mu kiffo ekyekusifu abantu webatasobola kutuuka.
04:2404:40Tokozesa mikebe gibademu dagala lifuuyirwa okuleetera mu amazzi ag‘abantu oba ebisolo.
04:4105:00Akafuuyira eddagala kooleze mu nnimiro gy‘ofuuyidde .
05:0105:10Womala okufuuyira ,yoza engoye zobaddemu era okyuse endala nga tonalya oba okunnywa.
05:5110:27Eddagala osobola oolifuuyira nga tonasimba,ng‘awakasimba,oba nga wayiseewo embanga.
10:2814:42.Okwetangira omuddo mu kulima muwogo.
14:4315:17Okwebaza

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *