Kalimbwe wenkoko asobola okw’awukana mundabika. Kyona kisinziira kundya y’enkoko, ebiseera mw’ekulide, ebiseera by’omwaaka, gunyogoga oba gy’okya era n’obulamu by’ebinyonyi okutwaaliza awamu.
Okuyita mukw’etegereza kalimbwe wenkoko zo, osobola okuteebereza oba waliwo ekikyaamu kunkoko zo. Kitera okukirizibwa nti kalimbwe wenkoko y’andibade nelangi nga eyevvu nga mulimu ebyeeru. Wakati mukino okubeera ekituufu, kalimbwe wenkoko ey’abulijo asobla okw’awukana okusinziira kundya, ebeera y’obudde wamu nembeera y’obulamu bw’enkoko.
Kalimbwe w’enkoko atali w’abulijo
Kalimbwe ow’akiragala atera kuleetebwa na butayagala kulya, obutabeera naby’akulya, enjoka z’omulubuto, obulwadde bwa obuyitibwa Mareks, obulwadde bwa Kawumpuli, obulwadde bwa avian flu wamu n’obulwadde bwa salmonella. Ekireetera kino ekitegeerekeka kyeky’ebinyonyi okulya ennyo enva endiirwa n’emiddo.
Kalimbwe ow’akittaka. Ono aleetebwa obutwa oba obulwadde bwa bronchitis. Ebiseera ebisinga aleetebwa kulya mere erimu amazzi amangi.
Ow’akyenvu n’ebyoovu asobola okubeera akabonero akalaga okubeerawo kw’enjoka mulubuto, ssotoka, wamu n’omusujja oguyitibwa fowl typhoid. Ebireeta ebirala muyinza okubeeramu okulya emere nga enkenene, ennyanya, oats ne kasooli.
Kalimbwe omumyuufu oba alimu omusaayi aleetebwa okweyongera kw’obulwadde bwa ssotoka, ebisenge by’omunda okuvaamu omusaayi oba ebitonde ebiriira kubinaabyo munda. Kalimbwe omweeru aleetebwa ebizibu mukukuba emere, obulwadde bwa bacillary white diarrhoea, ekabiriro, ssotoka, obulwadde obuleetebwa obuwuka obusirikitu obwa fungus oa virus.
Kalimbwe omuddugavu ategeeza kuvaamu musaayi mukitundu ekikuba emere eky’awaggulu ekiretebwa omusaayi oguba guyiise mukiyitibwa digestive tract.