»Ebijanjaalo kirime ekyesigika/ekyokubiri«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/beans-relay-crop

Ebbanga: 

00:13:20

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

TV-Agro-centro America
»Okusimba ebijanjaalo wakati mu nnyiriri za kasooli. Bisobola okusimbibwa nga kasooli tanakungulwa. Bisimbe bibiri mubuli kinya era ebanga lya 25cm mubugazi. Oluvanyuma lwo kungula ebijanjaalo, bitereke mu kyagi ekyekyuma.«

Bwoba oyagala okukungula ebijanjaalo ebimera oyina okusimba mu mabanga amagere ate n‘osimba embala y‘ebijanjaalo ekakasiddwa era ng‘aweyambisizza ebigimusa.

Ebijanjaalo bitera kukungulwa mu kitundu eky‘okubiri mumassekati ga sizoni y‘enkuba. Kino kitera kusala kumakungula era n‘ekyonoona n‘ebijanjaalo ebiri musitoowa naddala bwebirumbibwa kawukuumi n‘obukuku.

Okulima ebijanjaalo

Bwosimba ebijanjaalo nge‘kirime ekyokubiri ku kasooli lekawo amabanga ga sentimita 25 wakati wennyiriri ne bimera. Osobola okusimba ensigo 2 oba 3 buli kinnya. Osobola okusimba enyiriri 2 ez‘ebijanjaalo mu buli lunyiriri lumu olwa kasooli. Ebijanjaalo tebirina kusakatira okwewala ensasaana y‘enddwadde.

Ebijanjaalo bikola ekirungo kya nitrogen nga bikozesa emirandira gyabyo nolwekyo kirungi emirandira okula obulungi. Kulwe emirandira okukula obulungi weetaaga ekirungo kya phosphorus n‘olwekyo osobola okozesa ekigimusa ekirimu ebirungo ebisuka mu kimu. Oluvanyuma nga ekigimusa kizikidwa kigenda buterevu mubijanjaalo okwanguya enkozesa osobola okutabika mu mazzi.

Okutereka ebijanjaalo

Oluvanyuma lwo kukungula, olina okukaza ebijanjaalo era nobiteeka wamu ne bisusunku. Okukakasa nti ebiwuka tebiyingita, kozesa obukutiya bu satu. Bwoba otekateka okutereka ebijanjaalo mu kyagi ekye kyuma, kirongose era kijuze nebijanjaalo ebiyonjo. Oluvanyuma gattamu empeke.

Buli kkilo 150 ezebijanjaalo kozesa empeke emu. Teeka empeke mupukopo obweyambisibwa omulundi gumu okusobozesa obutegatta wamu nabijanjaalo, oluvanyuma sanikira ekyagi ekyakadongo kinywere bulungi nga weyambisa enkoba. Kawukuumi abiika amagi kubijanjaalo nga bikyali munnimiro. Gano amagi gasobola okusanyizibwawo empeke nga ziteredwa mu kyagi ekyekyuma. Ekyagi tekirina kuba nabituli okwetangira kawukuumi okuyingira ekyagi.

Oluvanyuma lwe naku 12 jjamu empeke mukyagi era zibikibwe buterevu muttaka okuziyiza abaana oba ebisolo okulya obutwa. Buli lwosanukula ekyagi kakasa nti okisanikira mu bwangu nate okuziyiza kawukuumi okuyingira.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:41Simba e‘bijanjaalo eby‘embala ebakasiddwa.
01:4201:49Leka amabanga ga sentimita 25 wakati wa layini ne mubirime.
01:5001:54Simba ensigo 2 oba 3 mu buli kinya.
01:5502:25Simba ennyiriri biri ez‘ebijanjaalo mu buli lumu olwa kasooli.
02:2603:05Ebijanjaalo tebiyina kusakaatira okwewala okusasaana kwendwadde.
03:0604:00Ziika ebijimusa.
04:0105:05Kulwenkozesa ennungi tabika ekigimusa mumazzi.
05:0605:54Kawuukumi abiika amagi mangi mu bijanjaalo nga bikyali munnimiro.
05:5506:40kaza ebijanjaalo era bitteke mu bukutiya 3 nga bikyaliko ebisosonkole.
06:4107:45Tereka ebijanjaalo mu kyagi ekiyonjo.
07:4610:43Teeka empeke mu kikopo mu kyagi era okisibe bulungi.
10:4410:56Oluvannyuma lwe nnaku 12 jjamu empeke mukyagi era zizikibwe.
10:5711:19Bwosanukula ekyagi, kibike mangu okuziyiza kawuukuumi okuyingira.
11:2013:20Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *