Okusalira nkola y’amanyi mubulimi bw’emiti gy’ebibala wamu n’ebibira naye abalimi bangi bebuuza nkola ki ez’okusimbako esira mukulonda matabi ki ag’okusalako.
Mukulonda amatabi ag’okusalako, sooka okebere omuti. Kino kizingiramu okutunuulira omuti n’okukola okusalawo eri omuti kwekugamba obulungi bw’omuti, engeri gyegubade gukulamu, ekikula ky’agwo, ekika ky’omuti ekirubirirwa kyaffe wekiri okukozesa obusobozi obw’obutonde ekika ky’omuti gwaffe kyeguyina.
Ensonga endala
Omutendera gumu omukulu mukw’ekebeja omuti nga w’etoloola omuti kubuli luuyi, sooka ozuule omuti ogukulembede okuva wakati w’omuti kwekugamba etabi erikula okuva wakati w’omuti okugezaako okutuuka mu bwengula.
Okulonda amatabi amabi okuva kumuti era kino kitw’aliramu ago amavundu, amakozefu mungeri yona oba agavunze. Sooka okole kw’ago era ogasaleko mukusalira.