Ovacado watunzi kukatale. Bwoba okungula ovacado goberera ebyo ebirambikidwa munkungula ya ovacado ey‘omulebe kukisobozese okukuuma omutindo wamu okwewala okufurizibwa.
Ekirala bwoba okungula ovacado wewale nyo obutamusuula kuva mubuwaavu bwa ssentimita asatu. Abalonda ovacado akungudwa balina okukikola n‘obwegendereza kino kitaasa ovacado obutayonooneka nasobola okutukana n‘omutindo kukatale.
Ebigobererwa mukukungula
Bwoba ogenda okungula ovacado wetanire okwambala engoye empeweevu wamu n‘okugoberera ebyo ebirambikibwa munkungula ya ovacado ey‘omulembe. Bwoba okungula ovacado mugireko ddala kukikolo oba lekako akakonda nga kakyakute ku ovacado kano tekalina kusuka buwanvu bwa kitundu kya kagalo ka naswi.
Bwoba omaze okungula ovacado muteeke mubisero n‘obwegendereza, ffuba okulaba nga tojuza nyo bisero kiyambe ku ovacado obutanyigirizibwa kubanga ayinza okwononeka n‘okugenda nga ayiikayiika.
Bwoba omaze okukungula ovacado mubikke mubunambiro aleme kwokebwa musana wamu n‘okubwa enkuba.
Wewale okukungula ovacado nga enkuba ettonya osobole okutaasa oluliba lwa ovacado olw‘okungulu obutakosebwa kubanga ovacado okoseddwa teyetanirwa nyo kukatale nga kino kiyinza okuviirako okufirizibwa ensimbi.
Bwoba ogenda okukungula nga weyambisa byuuma sooka obikebere nga tonabikozesa ate era n‘ebwoba omaze okukungula ovacado kakasa nga omugya mubikozesedwa okukungula obutasuka dakiika asatu (30).
Ekisembayo, taasa ovacado akungudwa okuva eri omusana kubanga guyinza okumwonoona n‘ekirala ovacado akungudwa alina okutambuzibwa n‘obwegendereza wamu n‘okuterekebwa mukifo ekirungi okwewala okufirizibwa.