»Ebigimusa eby’obutonde eby’amazzi n’ebyeekutte«
Ekikula kye ttaka n’obugimu biyinza kukolebwa n’okukuumibwa na nkola za butonde ennungi ez’ebigimusa eby’amazzi neby’ekutte kulw’obulimi obulungi.
Kubanga ebigimusa ebikolerere by’onoona ekikula n’obugimu bwe ttaka, bitta ensiringanyi wamu n’obuwuka obusirikitu obw’omugaso mu ttaka. Kulw’ebimera ebigimu wetaaga ettaka egimu omuli obuwuka obusirikitu obulungi obusobozesas ettaka okugonda era nga lirimu ekiriisa.
Okukola ebigimusa okuva mu butonde
Kulw’ebiimusa eby’amazzi eby’obutonde, oba wetaaga amazzi amayonjo, obusa bw’ente obubisi, omusulo gw’ente, ensaano, sukaali atali mulongoose ne ttaka edungi ebitabulwa nebiteekebwa mu kalobo nebisibwa mukisikirize.
Nyika sukaali mu mazzi, bitabule era obikeko akalobo.
Mungeri yeemu, tabula buli kumakya n’akawungeezi okumala eddakiika tano okumala wiiki emu ngozza kubuli ludda ku kono ne ku ddyo era okumala ekiseera, ekigimusa eky’obutonde kiba kiwedde era nga kituuse okukozesa era nga kikozesebwa mukumera era nemukumulisa nemukusaako ebibala. Yiwa ekigimusa kino mu nyiriri z’ebirime oluvanyuma lwenkuba okutonya era ne liita kubuli kikolo kya kibala buli luvanyuma lwa nnaku 15.
Eri ebigimusa eby’ekutte, oba wetaaga obusa obubisi, sukaali, omusulo gw’ente, ensaano ne ttaka. Teeka etundubaali mukisikirize, lisasaanyizeeko obusa, gattamu eby’etagisa, bitabule bulungi era obukeko okumala esaawa 24. Sasaanya obusa ku tundubaali olunnaku oluddako, kyusa ebitabuddwa mukiseera ky’okukala era bikalize mukisiikirize.
Mukweyongerayo, oluvanyuma ly’okubikaza okufuuka ensaano, bitereke mubukutiya oba osobola okubitabulamu ne nnakavundira era obikozese mukuteekateeka ennimiro.
Ekisembayo, wiiki 2 oluvanyuma lw’okusimbuliza oba ennaku 21 oluvanyuma lw’okusimba, ddamu obikozese nate.