»Ebigimusa ebiva mubintu ebivunda«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=QV-kIt6wHok

Ebbanga: 

00:06:50

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2014

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Shramajeevi TV
»«

Kubanga nkola yamugaso mu kukola ebigimusa, ebigimusa ebiva mu bintu ebivunda byongeera amaanyi mu bugiumu bw‘ettaka ekyanguyiza abalimi okufunibwa.

Ebigimusa ebiva mu bintu ebivunda bibeera ekintabuli ky‘obuwuuka obutono obuwa ebimera ebirungo nga bibuyisa mu ttaka oba mu mazzi. Rhizobium kekawuka akassinga okumanyika enyo era kabeera mu bubalabe obubeera ku mirandira gy‘ebimera era nga kagatta 20-50kg ez‘omuka ogwa Nitrogen mu buli yiika yettaka buli sizoni ekyongeza ku makungula ebitundu 15-30 ku buli 100 era nga ekirungo ekisigalira kikola mu sizoni eddako.

Enkozesa y‘ekigimusa ekiva mu bintu ebivunda

Okukola obulungi kizinzira ku kika ky‘ettaka, embeera y‘obudde wamu nenzijjanjaba y‘ebiwuka nobulwadde. Abamu bakozesa ebigimusa ebirala, abala bakozesa obuwuuka obutono enyo wamu negeri ezokugimusa ettaka endala

Otegeka ekirungo ky‘amazzi, nossiga ku nsigo, nosiiga ko ekigimusa ekiva mu bintu ebivunda bulungi notabula burungi. Oluvanyuma ensigo ozikaliza wansi wekisikirize era nozisimba mangu ddala nga bwekisoboka, Akawuka ka Azobacter kongera ku makungula, gateeka 10kg eza Nitrogen mu buli yiika y‘ettaka buli sizoni era nga kayambako okumeruka kw‘ensigo. Kakozesebwa nemukunyika ensigo, okunyika emirandira nokusasanya ettaka.

Sibyebyoka naye era osobola okubikzesa nga okozesa nakavundira. Bikozesebwa mukukola ebirungo ebikuza ebimera era bikumire mu ttaka okwongera ku nkulamu y‘ebirime. Akawuka ka Azobacter kazaala ekirungo kya antibiotic ekiziyiza obuwuka bwa fungi, bacteri a ne Virus.Kiyambako okuleeta ekirungo kya Phosporus.

Okweyongeryo, ekigimusa ekirala ekiva mu bivunda kye ki; Azosprillum nga nakyo kiteeka nitrogen mu ttaka era nokwengera okubeerawo kwa Phosporus, Zinc, Copper ne Sulphur. Kino kiyamba ebimera okunywa amazzi n‘ebirungo era ebimera nebifuna n‘emere. Singa olunnyo oba pH ebeera wansi, Phophorus akwekwebwa naaba nga tasobola kulibwa birime. Kino okuvaawo olina kukozesa akawuka ka bacteria akakyuusa enmbeera za phosphorus nabeera nga ebimera bimufuna.

Akawuka kano aka bacteria kakozesebwa mu kugema ensigo, okunyika emirandira oba okukasasanya mu nimiri mwenyini. 00g ez‘akawuuka kano ka PSB zezetagibwa okugema ensigo ezekigero ate obusigo obutono bwetaaga 100g. Bwekuba kunyika mirandira, otabula 1kg eya PSB mu 10-15ltr z‘amazzi olwo nonyikamu emirandira okumala edakiika 5 era osimba kumakya ddala wabula ate bwekuba kusasanya mu nimiro otabuala 3-5kg mu 50kg eza nakavundira nokozesa ebyo. Ekigumusa ekiva mu bintu ebivunda olina okukikumira mu kifo ekiwewevu nga tewali bintuntu ebikolerere..

Nemukusembayo, tokozesa kigimusa kino nga kiyiseeko era kozesa buwuka bumu nabumu obwa Rhizobium okufuna ebivaamu ebirungi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:27Ebigimusa ebiva mubintu ebivunda kiba kirungo ky‘obuwuka obutono ennyo obugabirila ebirungo eri ebimera.
00:2800:38Rhizobium kyekigumusa ekiva mu bivunda eksinga okumanyika nga kibeera mu bubalabe bwokumirandira era nga kireeta Nitrogen owomupewo mu ttaka.
00:3901:18Rhizobium eteeka nitrogen mu ttaka okwongera ku makungula ebitundu 15-30 ku buli 100.
01:1901:28Okukola obulungi kisinzira ku kika ky‘ettaka, embeera y‘obudde wamu n‘engeri kyetulwanyisaamu ebiwuka n‘endwadde.
01:2901:40Ebirala mulimu; ekika kyekigumusa, akawuuka akokozesebwa n‘engeri gyebikozesebwamu
01:4101:55Rhizobium akolebwa mu gezesezo (laboratory) era natabulwamu olusenyente.
01:5602:07Otegekeka ekirungo, nokisiiga ku nsigo, omansaako ekigimusa era nobitabula bulungi
02:0802:22Ensigo zikalize mu kisikirize era ozikozese okusimba ku makya ddala.
02:2303:06Azobacter eyongeza amakungula era eyanguyisa okumeruka kw‘ensigo.
03:0703:13Azobacter akozesebwa mu kugema ensigo, okunyika emirandira nokufuyira mu nimiro.
03:1403:29Kikolebwa nga otabula nakavundira, ekola ekirungo ikikuza ebimera era obitereke.
03:3003:47Kikola ekirungo kya antibiotic era kyongeza okuberawo kwa Phosphorus
03:4804:18Azospillum eyongeza obuliwo bw‘ebirungo phosphorous, zinc, copper and sulpher.
04:1904:48Azospirillum eyamba ebimera okunywa amazzi n‘ebirungo era nekifunira ekimera emmere.
04:4905:21Bacteria akozesebwa okugema ensigo, okunyika emirandira oba okumumansa mu nimiro
05:2205:43PSB akozesebwa okugema ensigo n‘okunyika emirandira
05:4405:55Nyika emirandira okuamal eddakika 5 mu kirungo era osimbe ku makya nnyo
05:5606:17Ekigumusa ekiva mu bintu ebivunda bikumire awantu awawewevu nga tebyegattamu bintu birala ebikolerere.
06:1806:32Kozesa obuwuuka bumu nabumu ate tokozesa ebigimusa ebiyiseeko
06:3306:50Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *