Mu katambi kano tukunyonnyola akaseera akatuufu mwoyinza okutandiika okuweera ebisolo byo emmere erimiddwa mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa n’ekipimo ky’okuziwa.
Obumyu, ente, embuzi oba endiga n’embizzi emmere erimiddwa mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa gulina okuziweebwa oluvanyuma nga zivudde ku mabeere okugeza nga zimaze okuyonka nga ozitandikiriza okuziwa emmere.
Enkoko
Enkoko ezibiika, tandiika okuziwa emmere erimiddwa okuva mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa nga zitandikiriza okukula naddala ku wiiki 8. Kino era kikola n’eku nkoko ez’ennansi.
Enkoko ez’ennyama, tandiika okuziwa emmere erimiddwa mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa oluvanyuma lwa wiiki bbiri kubanga zikungulwa oba okuteekebwa ku katale oluvanyuma lwa wiiki 6. Jjukiranga olina okuzitandiisa emmere eno mpolampola.