Okulunda enkoko z’ennyama kuwa amagoba era okuyita mu ndabirira ennungi ebisoomooza mu kulunda enkoko byewalibwa.
Ekirala, fuba okukuuma ebbugumu erimala mu kkulizo ku 33 degrees celsius mu nnaku essatu ezisooka era oluvannyuma lw’ennaku 14 toteekamu bbugumu mu biseera by’ebbugumu. Okwongerako gema ebinyonyi okutangira obulwadde bwa ranikhet wakati w’olunaku olumu okutuuka ku nnaku musanvu, obulwadde bwa gumboro wakati w’ennaku musanvu ku kkumi n’eddagala lya gumboro booster oluvannyuma lw’ennaku 21.
Enkola z’okulabirira
Bulijjo longoosa era oteeke obukuta mu nnyumba z’enkoko nga tonnaleeta bukoko buto okutandira endwadde.
Okwongerako, teeka amatala g’omu kkulizo essaawa 12-24 nga tonnaleeta bukoko buto okwongera ebbugumu mu kkulizo okutuuka ku 33-35 degrees celsius.
Ekirala, teekawo emmere n’amazzi ga glucose mu kkulizo era kebera ebbugumu ly’ekkulizo buli kadde wamu n’amazzi.
Fuba okuteekanga amazzi ag’omutindo n’emmere, kyusa obukuta, teekawo ekitangaala okumala essaawa 23 okusobozesa enkoko okubeera mu kifo ekyeyagaza.
Bulijjo teekawo ebbugumu mu bunnyogovu, ebiwujjo by’empewo mu bbugumu mu nnyumba z’enkoko okukuuma ebbugumu ly’omubiri era gemanga enkoko mu budde okwewala okubaluka kw’endwadde.
Kakasa nti okuuma enkoko 10-12 mu buli square metre era mu kkulizo teekawo eky’okuliiramu kimu ku buli bukoko 80-90 n’ekyokunyweramu kimu ku buli bukoko 100.
Era yongeza ku kikuuma obukoko buli lunaku era fuba okukuuma ebbugumu erimala mu kkulizo.
Ekisembayo, kozesa engatto zanjawulo mu nnyumba y’enkoko z’ennyama era teeka ekkomo ku bagenyi abayingira mu nnyumba y’enkoko z’ennyama okutangira obulwadde.