Beedi y’obutungulu (mubufunze)

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=nSII6VXApeE

Ebbanga: 

00:03:03

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Access Agriculture
Endokwa z'obutungulu zettaga ettaka eddamu, erigonda. Gatamu ekigimusa ekivunze obulungi oba nakavundira. Mu biseera byenkuba wetaaga okusitula akalimiro okwela emirandira gy'obutungulu obutavunda. Bwoba okozesa nsigo ez'omutindo, ensigo ezisinga zimera era tewetaaga nyingi nnyo. Endokwa z'obutungulu zetaaga awantu okumera, nolwekyo tobufutiika. Ensigo ziteeke mu layini 5cm-10cm okuzawula era wansi okuka 1cm. Ensigo ziziike n'ettaka tono ddala.

Okulima obutungulu nga obujja mu nsigo kyetaaga ebirowoozo byona. Nga obusigo obutono bumeruse, endokwa entono zirina okukumibwa okuva eri omusana wamu n’enkuba namutikwa. 

Beedi ekusobozesa okuzifukirira wamu nokukuuma obutungulu obuto paka nga bugumye ekimala okusimbulizibwa mu nimiro. Okukola beedi kikuyamba okubulabirira obulungi. Endokwa z’obutngulu zetaaga ettaka erikunkumuka. Beedi y’ensigo erina kukolebwa ku nkuba okulaba nga emirandira tegivunda. Ekigimusa ekivunze obulungi oba nakavundira bigatibwa mu ttaka nga osimba endokwa z’obutungulu. 

Okusimba ensigo

Nga okozesa ensigo ez’omutindo kikuyambako ensigo zona okumera. Endokwa z’obutungulu zetaaga amabanga okukula nolwkyo tozisimba kumukumu. Ensigo zirina okutekebwa mu layini ku mabanga ga 5-10cm era nokuka 1cm olwo obike ensigo n.ettaka tono. 
Yongerako okubika era obigyeko singa ensigo zimeruka. Okufukirira kukolebwa ku makya era kino kikuwa endokwa enamu nga ngumu ezivaako amakungula amalungi. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:59Okulima obutungulu nga obujja mu nsigo kyetaaga ebirowoozo byona. Nga obusigo obutono bumeruse, endokwa entono zirina okukumibwa.
01:0001:34Endokwa z'obutngulu zetaaga ettaka erikunkumuka. Beedi y'ensigo erina kukolebwa ku nkuba okulaba nga emirandira tegivunda.
01:3502:06Ensigo zirina okutekebwa mu layini ku mabanga ga 5-10cm era nokuka 1cm.
02:0703:03Okubika nga omaze kusimba era era n'okufukirira kukolebwa ku makya era ebibika bigibwako nga ensigo zimeruse. .

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *