»Amazzi okuva mukigimusa ekikoledwa ensiringanyi: kirungo kyabutonde eri ebirime«
Ekikula kye ttaka n’obugimu bisobola kukolebwa n’okukuumibwa okuyita mu bigimusa ebituufu era ebirungi eri ebirime kulw’obulimi obusoboka.
Nga obulimi obulungi obukuuma ettaka buwa emere kati nemubiseera eby’omumaaso, ettaka egimu obulungi gwemusingi gw’ebirime ebirungi. Okulimalima ennyo ku ttaka erimu kikendeeza obugimu bwe ttaka era ebbula ly’ebirungo ebitonotono muttaka kiremesa ebimera okufuna ebiriisa ebiteekebwa mu tytaka okugeza nga ebya NPK.
Okukola ebigimusa
Okusookeraddala, ekigimusa kya vermi-wash ge mazzi agasembayo okukunganyizibwa okuva mu nnakavundira akoledwa ensiringanyi. Mulimu ekirungo ekikuza ebirime, ebirungo ebitonotono, wamu n’ebirungo eby’amaanyi era kikozesebwa kunva endiirwa ne kumiti gy’ebibala.
Mungeri yeemu, Kola ekigimusa ky’amazzi agava mu nnakavundira okoledwa ensiringanyi nga oteeka tapu ku cupa eya pulasitiika okumukungaanya era okozese akagoye ka pamba oba akawero okuva ku katimba kensiri okusobola ok. Teeka ecupa mukisikirize era ogijuze ne 10-15cm ez’ebikoola ebikalu, gattamu 10-10cm ez’ebisubi era oteekemu 5-10kg ez’obusa obuvunda.
Gattamu kilo 2 ez’ensiringanyi mu cupa era ebintu tobikkatila obigobereze ne liita 1-2 ez’amazzi mpolampola era okebera obungi bw’oluzzizzi. Bika ecupa n’akagoye ensiringanyi okusobola okubeera mukizikiza era n’okwewala obuwuka era oluvanyuma lwe nnaku 10 okukungaanya ekigimusa eky’amazzi kuja kubeeranga kutandise kubanga liita 1-2 zezikunganyizibwa buli lunnaku.
Mukw’eyongerayo, buli kiseera lw’okungaanya ekigimusa ky’amazzi kino gattamu liita z’amazzi 2-4 mu cupa era okungaanye okumala emyeezi 3. ssaabulula ekigimusa kino n’amazzi nga tonaba kukifuuyiza birime era tokigattamu biragalalagala. Tabula liita 1 ey’ekigimusa ky’amazzi ne liita 1 ey’omusulo gw’ente ne liita 10 ez’amazzi okufuuyira kubirime nga bimera era nemukumulisa naddala kumakya oba akawungeezi ennyo. Nyika emirandira gy’ebimera mu kigimusa kino nga tonaba kusimbuliza era ofuuyire ettaka nga tonasimba.
Ekisembayo, oluvanyuma lw’emyeezi 3 tandika n’ebikozesebwa ebipya okukola ekigimusa kino. Gyamu ebisigalira n’ensiringanyi mu cupa era obisasaanye kukadeeya oyawulemu ensiringanyiokuva mubyo.