Okwongera ku makungula okufuna amagoba amangi, okuteekateeka kikulu. Nga okusimba tekunnakolebwa, abalimi balina okulowooza ku katale ki ke balimira. Akatale kasobola okubeera akoomuggwanga oba ak‘ensi yonna.
Kaamulali akula bulungi mu ttaka eggimu ery‘olusenyusenyu erijjudde ebigimusa eby‘obutonde nga teriregamya mazzi, nga lirimu akaserengeto akatonotono, era nga lirina olunnyo olutambulira wakati w‘ekigero ky‘ettaano n‘ettaano n‘obutundu musanvu. Kaamulali yeetaaga embeera erimu omusana, olubugumu oba ebbugumu wamu n‘enkuba mu mwaka omulamba nga eri wakati wa mmirimita lukaaga n‘olukumi mu ebibiri mu ataano. Ebbugumu eddungi eryetaagisa liri wakati wa ddiguli kkumi na munaana n‘amakumi asatu mu ebbiri.
Ebikolebwa mu kulima kaamulali
Meza endokwa nga osiga ensigo emu mu buli kasenge ku lubaati oba okumansa ensigo mu ngeri ya mpola mpola mu mmerezo era oziziiko ettaka eriweza ssentimmita emu. Emmerezo gibikke ppaka ensigo lwe zitandika okudda era obikke n‘akatimba akatayitamu biwuka. Nga ensigo zimaze okudda, fukirira buli lunaku.
Tema emiti egiri mu ttaka, lima omuddo, era osigule enkonge, teeka ebigimusa ebivudde mu by‘obutonde ebivunze obulungi mu bipimo bya kkiro ssatu ku kkumi mu buli ssikweyammita, wiiki ssatu ku mukaaga nga tonnasimba.
Ku makya oba olweggulo nga ebbugumu ttono ddala, simbuliza endokwa nga ziwezezza ebikoola bitaano. Ettaka lirina okubeera eggonvu era nga tririimu mafunfugu era n‘amabanga agalekebwawo gasinziira ku kika kya kaamulali. Mu kaseera k‘okusimbuliza, fukirira endokwa n‘eddagala eritabuddwa erya NPK eriweza ggulaamu ttaano, oba ggulaamu ssatu ez‘eddagla lya DAP eritabuddwa. Wiiki bbiri nga tonnasimbuliza, teekamu omugatte gwa ggulaamu ssatu eza NPK ne ggulaamu ssatu ez‘ekirungo kya ammonium sulphate era ogattirizeeko ggulaamu ssatu ez‘ekirungo kya potassium nitrate nga kaamulali amulisa, kiddinganibwa oluvannyuma lwa buli wiiki bbiri n‘ekirungo ekigumya obutaffaali mu bikoola ekijjudde ekirungo kya boron ekikyanguyiza okukola obulungi. Oluvannyuma lwa bulu lukungula, teekamu ggulaamu ssatu ez‘ekirungo kya potassium nitrate oba ekya ammonium sulphate okuwanvuya ku kiseera ky‘amakungula.
Okubikka kulina okukolebwa nga weeyambisa ebya ppulaasitiika oba omuddo era ennimiro erina okukuumibwa nga teriimu muddo nga ofuuyira oba okukooza enkumbi oba engalo.
Kaamulali abeera atuuse okunoga nga awezezza wiiki mukaaga ku munaana oluvannyuma lw‘okusimbuliza, era alina okunogebwa nga wa kiragala oba nga mumyufu okusinziira ku katale. Amakungula gatemera wakati wa ttani kkumi n‘abiri mu ebbiri mu buli yiika nnya okusinziira ku kirime n‘endabirira.
Ebitonde ebyonoona kaamulali ebisinga kuliko obuwojjolo obutono, enkuyege, ne‘bieuka ebirala. Mu ndwadde mulimu ekibabuko (anthracnose) ekiziyizibwa okukozesa ensigo ezitaliiko buwuka, okukyusakyusa ebirime wamu n‘okufuuyira eddagala erigoba olukuku. Obubala obuleetebwa obuwuka obusirikitu obuziyizibwa okukyusakyusa mu birime n‘okufuuyira nga okozesa eddagala erigoba olukuku nga lirimu ekirungo kya kkopa. Okuwotoka okuleetebwa obuwuka obusirikitu obuziyizibwa nga okozesa ensigo ezitaliiko buwuka, okufuuyira ensigo we zinaakulira, okubugumya okutonotono okw‘ebikebe ku birime ebisimbwa mu mikebe n‘ekirwadde ky‘okwengerera ekiziyizibwa nga okozesa ebika by‘ekimera ebitakirwala, okukyusakyusa ebirime n‘okufuuyira eddagala.