Okutondawo akabinja nga muli wamu n’abalimi abalala kulimu ebirungi bingi.Bulyomu asobola okuyamba era mu kiseera kyekimu basobola okuyigayo ekintu .
Abalimi abamu beetaaga okutendekebwa okusobola okumannya okugeza okusobola okumannya emiwendo kwebatundira amakungula gaabwe.n’olwekyo,webatafuna kutendekebwa okwo bafiirwa ensimbi.Mu kabinja,abalimi basobola okwekungannya nebagabana amagezi n’ebikozesebwa eri kinomu.
Okolera mu kabinja
Obubinja obuyamba butera kuba bwa balimi batono abeeyamba era abagaala okwongera ku magezi gebalina.Akabinja kasobola okwegamba ku bintu eby’enjawulo ebikwata ku byebasobola okutandika okolera ku ttaka lyabwe,ebirowoozo ebipya n’ebbigobererwa ebiriwo.Era okusomoozebwa basobola okukwasagannyiza wamu.
Akabinja kasobola okusalawo ku mateeka agakafuuga.N’olwekyo kyamugaso nnyo okusooka okwogera ku ani alina okweyunga ku kabinja.Okugeza osobola okusalawo nti omulimi ayingira omupya alina okuba nga ava mukitundu ekimu,oba ng’akola n’abatumbula obulimi oba nga muntu mulungi mu kukola ennyo.Abali mu kabbinja nabo bbalina okusalawo ku nzirukannya y’akabinjja.Okugeza osobola okulonda ssentebe,omuwandiisi,omuwanika ne b’ofisa abalala.
Musobola okweyamba mu by’ensimbi wemuba mu kabinja.Nolwekyo mubamusobola okukola wo enkola y’okutereka n’okwewala.Buli omu aleetayo akasente akatono buli lwe musisinkana.Ensiimbi zinno zisobola okuwolebwa memba w’akabinja okusobola okugula ebigimusa,ensigo oba okusasula abakozi.Gwebawoze ensimbi zinno aziteekamu amagoba ng’azisasula.
Bulijjo abalimi basaanga obuzibu mu kusalawo ku miwendo gyebatundirako amakungula gaabwe.Batera okuba nebyebatunda nga tebifaanagana mu bungi.Wanno basobola okubitundira awamu nebafunamu sente eziwera.
Ekirungi ekirala kiri nti,muba musobola okugulirawamu ebikozesebwa ,ebisobola okuba eby’ebbeyi singa omulimi aba abiguze yekka.Okuteebereza okulala okugatiibwako kujakuba nti kwekugula ebikozesebwa ng’obigulira ekibinja osobole okubifuna ku bbeeyi entono.
Abakulaakulannya eby’obulimi n’abasobola okwatagana n’abalimi abasinga bagala nnyo okolagana n’obubinja kubanga kiyanguyira nnyo gavumenti n’ebitongole ebirala mu kutendeka ne mukubategeka.