Soya y‘emu ku mmere y‘omuttaaka erimibwa abalimi. Erina emigaso mingi okuli okuba nti eribwa abantu n‘okuba nti akozesebwa ng‘ensibuko y‘ekirungo kya protein mu mmere y‘ebisolo.
Ekigero ky‘amakungula ga soya mu mmambuka ge Ghana gali wakati wa kilo 500 ku 800 ku yiika 14 ezettaka awalimibwa era kino kiri wansi nnyo ku makungula agasobola okuvaamu. Okusobola okendeeza ku kufiirizibwa mu makungula, okwongera ku mutindo gw‘okutereka mu ammakungula, n‘okukozesa ensigo eziri ku mutindo kisobola okuyamba abalimi okwongera ku makungula. Wetwesigama ku nsigo ezebika eby‘enjawulo eziri ku mutindo zokka , amakungula geyongera ku kipimo kya kilo gulaamu 2000 ku yiika 14.
Ebirungi ebiri mu kulimira ku bikata
Abalimi bakubirizibwa okulima ku bikata okusobola okutumbula enkula ennungi ey‘ebimmera. Okusimba ebimmera ku bikata kusinga okusimba ku ttaka eriseeteevu olw‘enkuba etateberezeka. Olumu ettonnya n‘ereeta amattaba mu kaseera akatono. Enkuba weba ennyingi n‘ereeta amataba,amazzi agaba ku bikata gaserengeta mu mikuttu ebikata nebisigala nga tebiriimu mataba.
Okusimba ku bikata kusobozesa ensigo okummera obulungi kubanga ensigo za soya wezinnyikira amazzi kiziziyiza okummera
Okusimba ku bikata kuyamba mu kuwa ebimmera amabanga kubanga ebikata biba bya mabanga gegamu.