Nga ensi yeeyongera okukyuka mu ngeri esukkulumye okuva mu ngeri ez’enjawulo ez’okukola ebintu okutuuka ku mulembe gwa digito, kibeera mu budde era kya magezi omuntu okukwatagana n’ebiseera ebikyukakyuka, baleme okusigala emabega. Tekyetaagisa kwogera nti abakugu mu by’obulimi balina okubeera ku mwanjo mu kukkiriza enkola ya digito.
Okufuna amawulire mu ngeri ennyangu, nga, y’emu ku makubo enkyukakyuka eno mw’esobola okuyita okutuukirira, era wamu ne UNYFA’s Farmer Organization Video Library (FOVL), enkola eno yayanguyirwa dda.
FOVL ye digital platform nga video content ez’enjawulo ezikwata ku kintu kyonna na buli kimu ebyobulimi byogerwako, okuvvuunulwa n’okuteekebwa ku mukutu. Omukutu guno okutuusa kati guvvuunula ebirimu mu Lungereza, Oluganda, Oluswayiri n’Olufaransa, okusobozesa abakozesa ab’enjawulo okuganyulwa.
Okuwa emboozi enzijuvu ku ngeri FOVL gy’egonzaamu enkola z’okulima n’okulunda twayogeddeko ne Joseph Ssemayengo, owemyaka 27, era nga mulimi w’omu bibuga, okukola ku by’ensuku (enva endiirwa n’enkola y’okulima mu ngeri ey’obutonde). Ssemayengo era atendeka abavubuka mu nkola za Agro-ecology.
Wamanya ddi era otya ku FOVL, era kiki kye walowooza ku pulatifomu eno mu kusooka?
Nze siri muyizi wa Bulimi, wabula omulimi omunyiikivu anyumirwa okuteeka ebintu awamu n’okufuna ebivaamu ng’ayita mu kufuna obukugu mu ngeri ez’enjawulo. Oluvannyuma lw’okukozesa emikutu egy’enjawulo egy’oku yintaneeti okunoonya amawulire agakwata ku bulimi, ng’abamu balaga nti bayamba ate abalala ne babuzaabuza, nawulira ku FOVL,nga July 1, 2021,bwe yatongozebwa.
Wamu n’omukutu guno, n’ebiguliko, naddamu okufuna essuubi n’obwesige mu kufuna ebikwata ku nnima ebikwatagana era ebikulu, naddala nti omukutu gwali guddukanyizibwa ekibiina ekigatta abalimi abato (UNYFA), ekibiina ekimanyiddwa ennyo.
Ekyasinga okunsikiriza kwe kuba nti obutambi bwonna obukwata ku kulima bwavvuunulwa mu nnimi ez’enjawulo ng’Olungereza n’Oluganda, zentegeera obulungi.
Business yo ey’okulima ekyuse etya okuva lwe watandika okukozesa FOVL?
Mu nsonga y’okusaasaanya ssente ennyingi mu kugula ebikozesebwa mu bulimi eby’ekikugu, FOVL ennyambye okuyiiya engeri endala ez’okwekolera ebikozesebwa mu bulimi. Kino kinyambye okukendeza ku nsimbi ezikozesebwa.
Pulatifomu eno era enjigiriza bingi ku nnima ey’obutonde, era kino kinnyambye okutumbula ffaamu yange, kye kiva kisikiriza bakasitoma abangi.
Kusoomoozebwa ki kwe wali osanga mu bulimi bwo era FOVL yakuyamba etya okubigonjoola?
Ekisooka, byali bikozesebwa ebicupule ebitali bya butonde ku katale omuli n’eddagala ly’ebiwuka. Kyabanga kizibu okumanya ebicupuli n’ebitali, naye FOVL ekuwa amagezi ku ngeri y’okukozesaamu ebiyingizibwa ebituufu era ndi muganyulwa mu birimu bino.
Nnayiga n’okukola eddagala lyange eritta ebiwuka erya organic, eddagala eritta ebiwuka nga vermi wash, n’ebigimusa eby’amajaani n’ebirala, nga nkozesa ebintu ebinneetoolodde.
Ekyokubiri, ssente ennyingi ezisaasaanyizibwa mu kupangisa omukugu mu by’obulimi okwebuuza nazo zakendeera. Nga tulina ebirimu ebikwatagana ku mukutu gwa FOVL, nsobola okufuna obuyambi nga tekikwetaagisa kupangisa musawo wa bulimi.
Kusoomoozebwa ki kw’oyolekedde ne pulatifoomu eno okutuusa kati era olowooza nkyukakyuka ki ezirina okukolebwa?
Mu buntu, sifunye kusoomoozebwa kwa maanyi ku FOVL, naye, vidiyo ezimu tezinnaba kuvvuunulwa mu nnimi z’omu kitundu, ekireka ebigambo ebimu nga tebimanyiddwa.
Magezi ki g’oyinza okuwa omulimi atagezezzaako FOVL?
Ekisinga obukulu, kirungi batandike okukozesa omukutu guno kati kubanga okunoonya okumanya kutuyamba okukyusa ebirowoozo byaffe okubifuula ebituufu, n’okutuuka ku buwanguzi bwe twagala mu bulamu. Newankubadde, okumanya kutuyamba okwawula ekituufu n’ekikyamu. Kituyamba okuvvuunuka ensobi zaffe, obunafu n’embeera ey’akabi mu bulamu, eri abatasoma bya bulimi, FOVL eri wano okutuyamba okukyusa bizinensi zaffe ez’ebyobulimi.