Obulunzi bwente z’amata bizinensi efuna kubanga obw’etaavu bwebyo ebiva mu mata buli waggulu, newankubade nga okutandika faamu yente z’amata waliwo ebikulu eiyina okuteekebwa mu nkola.
Wabula nga otandika okulunda ente z’amata oyina okugula ebisolo ebiramu era ebigemeddwa okukendeeza ku kufa n’obulwadde. bulijo ensolo z’amata zetaaga ebiriisa bingi okusinga kunsolo ezenyama n’olweekyo ebiriisa ebitali kumutindo bikendeeza obungi bw’amata. Mukw’eyongerayo nga tonaba kukozesa kintu kyonna ku faamu y’amata sooka otegeere gyekiva okusobola okukendeeza ku kusasaanyizibwa kwe nddwadde.
Eby’enkizo
Tandika nga okola okunoonyereza okungi ennyo ku lulyo lw’ensolo olulungi wamu n’okufuna okuwabulwa okuva mubitongole by’obulimi n’obulunzi okusobola okukola okusalawo okulungi, n’okutebereza omuwendo egw’etagibwa okukozesa.
Eky’okubiri, salawo w’onaja emere enekozesebwa ebisolo. Nate era tunula nekumuwendo gw’okupangisa ettaka okusobola okwanguyirwa okusalawo ebisolo bimeka eby’okuteeka mubuli kifo.
Kakasa ekuwakisa okw’abuli kiseera. Okuwakisa okutali kwansolo kulinyira ndala kukubirizibwa kubanga kwa sente ntono n’okufunamu okuli waggulu singa kuba kukoleddwa bulungi.
Mukw’eyongerayo, yiga endabirira z’ensolo ezenjawulo okusobola okufuna obukugu n’amagezi.
Zimba amaterekero, enyumba omukamirwa, enyumba y’obuyana, enkola ey’okufukirira omuddo. Era kebera ensolo nga tonazigula okusobola okuzuula ebitali bituufu.
Bulijo funa amagezi okuva eri abalunzi abalala, obutale, era otebereze omuwendo ogwetaagisa okutambuza obulunzi wamu n’ebiteekebwaamu.
Okugattako, gula ensolo ezitali nddwadde, z’awule mukuzitambuza okutangira era n’okuziyiza okusasaana kw’obulwadde.
Buli kiseera kebera enkwa ku nsolo era otereke emere bulungi okwewala okw’onooneka. Mukukama kakasa nti okamira ensolo mukifo ekiyonjo n’engalo enaabe era enkalu.
Ekisembayo kuuma ebiwandiiko by’ensolo okusobola okugoberera embeera z’ensolo, n’emiwendo egiteekebwaamu
ate era kola teekateeka nga tonaba kutunda nsolo obutatuuda lulyo lulungi.