Kasooli alimu ekirugo ekiwa omubiri amaanyi, ekikuza wamu ne minerals. Era alibwa nga emere okw’etoloola ensi yonna.
Waliwo ebitonde wamu nenddwade nyingi ezikendeeza kumakungula ga kasooli. Enddwade nga downy mildew, amabala kubikoola, okuvunda kw’emirandira, okubabuka kw’ebikoola, okuvunda kwenduli era nebitonde nga essenene, obusaanyi, enkuyege, ne stem borers. enddwade ziretebwa buwuka obusirikitu obuyitibwa bacteria, fungi ne virus era nga buisobola okwetangira nga olongoosa enimiro oluvanyuma lw’amakunkula, okukyuusakyuusa mubirime, okusimba ebika by’ebirime ebitalwaalalwaala era n’okutangira ebyo eritambuza ebiwuka. Mukuziyiza ebitonde, fuuyira nga weyambisa eddagala eriragiddwa, ssanyaawo ebiswa mu nimiro.
Ennima y’akasooli
Kakasa nti okozesa kilo 200 ez’ekigimusa kya NPK buli ekiteya nga osimba kuttaka egimu era ne kilo 600 ku ttaka eritali gimu mu mitendera ebiri mukusima era wamu n’oluvanyuma lwa wiiki 5-6, era tangira omuddo okukendeeza kukulwanira ebiriisa era okendeeze kukulumbibwa kwenddwade wamu n’ebitonde eby’onoona ebirime.
Mukugattako kungganya ettaka okw’etoloola ekikolo okusobola okubikka emirandira gy’ekirime egirabika wabweeru.
Mukw’eyongerayo koola oluvanyuma lwa wiiki 2 nga osimbye era okozese ebiimusa nga olukoola olw’okubiri terunaba kutuuka kwekugamba wiiki 6-7.
Eky’okusatu tangira enddwade n’ebitonde nga weyambisa ekika ky’ensigo egumira enddwade, okukozesa eddagala erirambikibwa naye ate singa omulimi tabeera na sente, fuuyira nga weyabisa ssabuuni atabuddwa mu mazzi era nga kino kikola nnyo mukuziyiza akasaanyi.
Mukufundikira jawo ebisoolisooli oluvanyuma ly’okukungula era obikabalire mu ttaka ogatteko nakavundira okusobola okufuna amakungula amangi.