Okulonda ensigo kikola ky’amaanyi mu bulimi bw’omuceere. Ensigo ezirondebwa okulimibwa zirina okuba nga zenkana obunene, obukulu, nga temuli bikyafu era nga zirina obusobozi okumera.
Okwawula ensigo enungi ku nsingo embi, nyika ensigo mu mazzi, ensigo enfu zidda ku ngulu kw’amazzi, ate ensigo enungi okusimba zijja kuka wansi. Nga omaze okugyako ensigo enfu nyika enungi okumala esawa 10-12 olwo ozigye mu mazzi osibikire mu gutiya embisi. Bwomala ekyo damu ozinyike okumala esawa munana.
Okumerusa ensigo y’omuceere
Ensigo zigemese obusa bw’ente okwanguya okumera. Funa 1/2 kya kilo y’obusa obupya wamu n’omusulo liita biri obitabulemu amazzi ga liita 5. Bwomala ozubitabula mu busa zireke zikale okumala esawa munaana.
Ensigo ziba zimera.
Obungi bw’ensigo obwetagisa mu hactare y’ettaka erifukirirwa buli; bwekiba kika ekikual amangu: kilo 60-70, ekika ekitwala ebbanga eddeneko kilo 40-60 , ekika ekitwala ebbanga eddene ddala kilo 30-60 ate boba olinda nkuba simba kilo 85-100.
Ebikolebwa mu kulima
Kabala enimiro okutema nokukubakuba ettaka mu bitundu oba okunkumukira ddala okusanira ensigo. Tuuma ettaka ku buwanvu obumpi okusobola okusasanya nokugonza ettaka wamu okugyamu omuddo wamu nolutabula emirungo mu ttaka.
Kola obulimiro mu nimiro nga oyingiza mazzi mu nimiro z’omuceere okusobola okukuuma amazzi amangi okwenkana 5-10cm nga wakamala okulima. Okuyisamu amazzi kiyambalo okukubakuba ettaka wamu n’ebitole by’ettaka ebinene.
Seteeza enimiro y’omuceere otereze ensalosalo eziri mu nimiro okusobola okulimiramu obulungi.
Engeri z’okulimamu omuceere
Enkola ey’okumansa wano nga okasuka ensigo n’emikono. Kisinga kukolebwa mu bifo ebibeera ebikalu nga ssi bigimu. Era y’enkola esinga obwangu nga yetaaga amanyi matono. Enkola e’yokusonseka mu ttaka wano nga enimiro ekabalibwa nga bwosimba ensigo z’omuceere era nga kikolebwa abantu babiri.
Enkola ey’okusimbuliza ekolebwa mu bifo ettaka nga gimu nga n’enkuba etonyayo nnyo. Endokwa kikuzibwa okumala wiiki 4-5 mu beedi olwo nezisimbulizibwa.
Enkola eya ba Japanerimu okukozesa ensigo ezibala ennyo nga osimba mu beedi eri waggulu olwo nosimbuliza endokwa mu layini okusobozesa okukoola ekyangu wamu nokusaamu ebigimusa. Kino era kiberamu okukozesa ebigimusa nga bingi okusobola okufuna amakungula amangi.