Okwewala okufiirizibwa oluvannyuma lw’amakungula: OkuKaza,okwekebejje,okulongoosa n’okugezesa.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://sawbo-animations.org/711

Ebbanga: 

00:05:03

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

SAWBO
Akatambi kanno kannyonyola engeri y’okukuuma mu empeke mu biseera by’okuzitereka.Enkola eno erimu okukaza empeke,okwekebejja,okulongoosa n’okugezesa.Wogoberera enkola eno,ogya kuziyiza empeke zo okwonooneka n’okwongera ku mutindo gwazo .Enkola eno egya kuyamba okukakkasa nti oyonona empeke ntono ddala ekigya okwongera ku magoba go woba otunda era n’okusigaza empeke eziwera ez’okuwa bantu bo.
Obutwa obuyitibwa (Aflatoxins) buletebwa obukuku obusangibwa mu mmere era emmere weba teterekeddwa bulungi esobbola okuviirako ekibumba okwonooneka ne kokolo.Omutindo gusobola okuumibwa nga tukozesa enkola erimu okwanika,okwekebejja,okulongoosa n’okugezesa.
Mukusokera ddala ,empeke zikaze nga tonazitereka.Obuweweevu obulagibwa mu kutereka ensigo buba ku kipimo kya 12% oba okukka ate ku nsigo ezirina lubutto okugeza ng’ensiggo za soya,obuweweevu obulagirwa buli ku kipimo kya 10% oba okukka era oluvannyuma lw’okukaza,empeke ziteeke mu bukutiya ebutalina bituli era obusaanike bulungi busobole okuterekebwa.Eky’okubiri,wekebejje ekizimbe empeke wogenda ozitereka era ozibe buli katuli kolabye mu kizimbe.Kinno kiziyiza amazzi g’enkuba okutonnya mu nnyumba nga gayita mu kasolya n’ebitonde ebyonoona emmere y’empeke okuyingira.Era empeke eziteereddwa mu bukutiya togitereka wansi.
Obuyonjo n’omuddo oguteetagibwa
Longoosa ekiffo awaterekebwa era buli kiseera wekebejje wo ng’okyetoloola okukakkasa nti tewali muddo gummeze.Kinno kiziyiza ebuwuuka n’ebitonde ebyonoona emmere y’empeke okubeera mu kiffo ekyo.
Ekiffo awaterekeddwa empeke toteeka mu mikebe gy’eddagala erifuuyirwa erita ebiwuka,ebirongoosa ebikozesebwa,empeke ezirumiddwa obuwuka n’engoye.
Gezesa empeke buli kaseera okusobola okumalawo obuzibu obutono nga tebunafuuka bunnene.Kebera empeke  zo oba zirimu obukuku,era obuweweevu oba bususe ogateko okunonnye obutuli oba awayulise n’obuwuka mu bukutiya bw’empeke.Ebukutiya webusangwa mu obuwuka obulya ensigo ,okufuuyirwa kuyinza okwetaagibwa  okusinzira ku bukosefu obuwuka bwebuleese ku mpeke.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:45Obutwa obuyitibwa Aflatoxins obuva ku bukuku
00:4601:46Okusobola okukuuma omutindo gw'empeke zo,zikaze bulungi era ozitereke mu bukutiya ebusanikiddwa obulungi
01:4702:30Wekebejje ekizimbe mwogenda okutereka empeke zo era ozibe buli ktuli.Era obukutiya mwotadde empeke zo tobuteeka wansi
02:3103:16Kuuma ekiffo w'otereka empeke zo n'okwetoloora wo nga wayonjo
03:1704:15Gezesa empeke zo buli kadde okusobola okumala wo obuzibu obutono nga tebunafuuka bunnene
04:1605:03Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *