Ekigajji kirime ekimanyikiddwa nga eky’eddagala kuba kigwa mu kika ky’ebimera ekiyitibwa Liliceae. Ekigajji kisukka omwaka gumu nga kirimiddwa kuba ebikoola byakyo bikola nnyo ng’eddagala.
Kirina emigaso mingi nnyo eri obulamu bw’omuntu. Okulima ekigajji mu India kugenda kumanyika nnyo kuba kuvamu amagoba mangi buli yiika okusinga obulimi n’obulunzi ebya bulijjo atera kyetaagisa amazzi matono nnyo. Obugazi n’omutindo gw’ettaka z’ensonga ezisinga okuteekebwa mu nkola nga oyagala okufuna amagoba ageyegaza okuva mu kirime kino. Okubaawo kw’ebintu ebikozesebwa ku faamu n’akatale aw’okututndira ekigajji gattako okumanya engeri gy’ogenda okukwasaganya bizinesi yo kintu kikulu nnyo.
Ebika eby’enjawulo
Ebimu ku bika by’ekigajji ebisinga okuba eby’omugaso mulimu; ekya tiger yellow, lace yellow, blue yellow tiger.
Ekika kya blue yellow tiger kiba kitono nga kigonda n’ebikoola ebiwanvu ebiweza inch 6.
Ekika eky’ekigajji ekya blue aloe kirina langi ya bbulululu atangaalijja era kiwanvu okutuusa inch 24. Ekika ky’ekigajji kino kyetaagisa amazzi agawera okukula nga kiggumu. Ekika ky’ettaka n’embeera y’obudde ebirungi bya mugaso nnyo mu bulimi obw’obutonde obw’ekigajji. Okubirizibwa okukozesa ebigimusa ebikoleddwa okuva mu butonde ku birime
Okufuukirira
Ekigajji kirime ekiggumira ekyeya noolwekyo ekirime kisobola okubeerawo nga kifuukiriddwa kitono. Wabula, obutafuukirira kirime kigajji kijja kukendeeza ku buwangaazi bwakyo.
Engeri y’okufuukirira ekirime ekigajji esinga ye y’okukifuukirira kyonna n’okuleka amazzi gakalire oddemu ofuukirire nga ettaka ly’okungulu likaze. Mu birime eby’eddagala nga ekigajji ekirina ebivamu omubisi ogunywebwa butereevu nga eddagala, okusimba obulungi n’okukifaako kikulu nnyo
Okuziyiza ebiwuka ebitawaanya ebirime
Ezimu ku nkola zeezo kuggyamu ebirime by’ekigajji ebirumbiddwa obulwadde. Osobola era okukozesa kamulaali, obutungulu ne katungulu ccumu asekuddwa n’omutabula mu mazzi oluvanyuma n’ofuuyira ekirime.
Osobola era okweyambisa ebiwuka eby’omugaso ebirya ebiwuka eby’obulabe. Ekimu ku byo kye kiyitibwa lady bug. Kungula ebikoola by’ekigajji oluvanyuma lw’okusimba mu myezi 7 ku 8 . Kozesa akambe akoogi mu kukungula era okikola n’obwegendereza okwewala okufirwa omubisi okuva mu kitundu ky’osaze.