Ensonga bbiri enkweke ezivaako okufa kw’enkoko z’ennyama

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=0XrmT73sL2k

Ebbanga: 

00:04:42

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agribusiness Insider
Wali okyegenderezaako nti enkoko zo ez'ennyama zifa nga tezirina bubonero bwa bulwadde bwonna? Kale, mu katambi kano nkulaga ensonga bbiri ezivaako okufa kw'enkoko z'ennyama amangu n'engeri gy'oyinza okuziyizamu okufa kwazo.

Enkoko z’ennyama zirina obulamu obw’okwegendereza era ebiseera ebimu  zifa mangu era abalunzi ebiseera ebisinga  tebategeera kiziviraako kufa.

 Ensonga bbiri ezisinga obukulu ezivaako okufa kw’enkoko z’ennyama nga teziraze bubonero bwa bulwadde mulimu obulwadde obuviraako enkoko okufa amangu obuyitbwa sudden death sydrome n’obulwadde obuva ku kkabiriro ly’ebuggumu eriyitiridde  mu mubiri  gw’enkoko obuyitibwa heat stress. Obulwadde obuviraako enkoko okufa amangu obuyitibwa sudden death syndrome butta enkoko z’ennyama nga tebusoosoodde bukulu bwazo mpozzi n’ebinnyonyi ebirwadde bisobola okufa nga birumbiddwa obulwadde bw’omutima. Kino kisobola okwewalibwa nga weyambisa enkola z’okuliisa ez’enjawulo  okugeza okuziriisa emmere erimu kasooli omungi okusinga engaano, okuziriisa emmere erimu ekirungo ky’ennyama, okuziriisa emmere erimu ekiriisa ekizimba omubiri ekiweza ebitundu 24 ku buli kikumi okusinga ebitundu 19 ku buli kikumi atera n’okuziriisa emmere erimu ekirungo nga kitono ekiggumya amagumba, ekya phosphorous, ekya potassium ne kya magnesium.
Obulwadde obuva ku kkabiriro ly’ebbugumu eriyitiridde mu mubiri gw’enkoko obuyitibwa heat stress
Buno bwe bumu ku buzibu obutawanya abalunzi bw’enkoko z’ennyama. Buviraako enkoko okunywa ennyo amazzi, okuwekeera ekizireetera okufa. Obulwadde obuva ku bbugumu eriyitiridde mu mubiri gw’enkoko obuyitibwa heat stress busobola okwewalibwa mu ngeri zino wammanga:
Okuyingiza n’okufulumya empewo obulungi. kino kye kyokka ekisobola okutangira  obulwadde bwa heat stress era  amabanga empewo mweyita  gasobola okwongerezebwa nga oyongerako amaddirisa amalala mu kuzimba oba okukozesa ebiwujjo ebireeta empewo ennungi. Sereka ennyumba y’enkoko nga okozesa amabati g’ebyuma oba aga asbestos. Wabula naye wegendereze nnyo nga okozesa amabati ga asbestos kubanga gabulabe nnyo eri obulamu.
Liisa enkoko zo ku makya era oggyemu ebiteekebwamu emmere ssaawa 6 nga ebbugumu terineeyongera.  Ebiteekebwamu emmere bisobola okuddizibwamu oluvanyuma lw’ebbugumu okukendera mu.
Engeri endala ey’okutangiramu obulwadde buno yeeyo y’okuwa enkoko amazzi agamala n’okuteeka bbalafu mu mazzi singa gaba gabuggumye gasobole okuweeweera.
 Teeka mu mazzi enkoko gezinywa ekirungo kya electrolyte okumala ennaku ssatu. Era enkoko zigattireko emmere erimu ekirungo kya vitamini A,B,E ne B complex. Bino bikola nnyo mu kuziyiza okufa kw’ekirwadde ekiva ku bbugumu eriyitiridde.
Kakasa nti wokumira enkoko wamala zireme okwenyigiriza. 


Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:30Obulwadde obuviraako enkoko okufa amangu obuyitibwa sudden death syndrome n'obuva ku kkabiriro ly'ebuggumu eriyitiridde mu mubiri obwa heat stress bwe bumu ku biviraako enkoko z'ennyama amangu ennyo.
00:3101:04Ebiva mu kkabiriro ly'ebbugumu erisusse mu nkoko z'ennyama
01:0503:39 Engeri ez'enjawulo ez'okutangiramu obulwadde obuva ku kkabiriro ly'ebbugumu erisusse mu mubiri gw'enkoko
03:4004:42Obubonero n'engeri y'okutangiramu obulwadde obuvirako enkoko okufa amangu obwa sudden death syndrome

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *